Omuwagizi wa NUP abuuse abaserikale ba poliisi nga yeetaasa

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno mwe mwabadde abawagizi be okudduka.

Waliwo eyeewuunyisizza abantu bwe yabuuse  abaserikale ba poliisi nga yeetaasa okumukwata. Napoliisi basigadde beewuunya ono gye yatendekerwa okuyiga okubuuka n'ekinyonyi.

Owa Nup Eyabadde Atambulira Ku Mmotoka Ya Bobi Wine Ng'abuuka Okwetaasa Abapoliisi Okumukwata

Wabula waliwo n'owapoliisi eyavudde ku mmotoka n'agwa nga balondoola Bobi Wine eyabadde e Bundibugyo, Bunyangabo ne Kasese ku Lwokubiri.

Owapoliisi Eyavudde Kukabangali N'agwa.