Bannange nkyali sitede sinnalwala Covid - Dr. Bbosa

Dr. Bbosa owa Ebonies

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti mulwadde muyi.

"Bannange njagala okubategeeza nti ndi mulamu katebule. Sinnalwala bulwadde bwa Covid 19 ng'engambo ezibungeesebwa mu mikutu gy'ebyempuliziganya .

 Mu kiseera kino ndi mu ssaluuni nga nneetegekera okwegezaamu kw'emizannyo gyaffe egiragibwa ku mutimbagano (online) ku Ssande.

 Kino kiddiridde ebibadde biyitingana nti Bbosa mulwadde muyi alina obulwadde bwa COVID-19 mbu mu kiseera ali ku byuma ebimuyambako okussa.

Bbosa omubalirizi w'ebitabo yatandikika okuzannya emizannyo mu Ebonies okuviira ddala mu 1988 n'okutuusa kati. 

"Ebintu bino nnasoose kubiyita bya lusaago naye ate abawagizi bange bwe batandise okunkubira essimu n'okutataaganya okwegezaamu kwange ne manya nti lubaze.

Yagambye nti okufaananako ne bannakatemba n'abayimbi abalala nabo beesunga gavumenti lweriddamu okubakkiriza okuddamu okusanyusa abantu baabwe.