Minisita wa Kabaka eyafudde Corona aziikibwa nkya

Lutaaya Mukomazi

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi afudde ekirwadde kya COVID-19.

 Minisita w'e Mmengo avunaanyizibwa ku byamawulire Buganda, Noah Kiyimba, yakakasizza okufa kwa  Lutaaya Mukomazi. 

Agambye nti Mukomazi yafudde ku Lwakuna ku ssaawa nga 10:00 ezoolweggulo.  Omugenzi abadde mu ddwaaliro e Nsambya gye yatwaliddwa ng'ataawa.

 Mukomazi yaweereza Buganda mu kiseera kya Katikkiro Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere yayatiikirira nnyo bwe yalwanirira ebibira ebyali bisaanawo mu Buganda. 

Kiyimba yagambye nti omugenzi abadde yasannyalala nga kuva ku bulwadde bwa puleesa bwe yalina n'obulala obwekuusa ku bulwadde buno okuva lwe yava ku buweereza e Mmengo . 

Mu 2016, waliwo baminisita abaamukyalirako mu maka ge  e Lubowa okuliraana ne supamaketi ya Quality Supermarket ne beewuunya okumusanga nga takyasobola na kwogera.

 Mukomazi ajja kuziikibwa enkya mu maka ge e Lubowa. 

Omukulu w'ekika ky'e Ngonge Omutaka Kasolo Mathias Kaboggoza Muwanga amawulire gano yagawulidde ku ttivvi emu ng'elanga okufa kwa Mukomazi eyaweereza ennyo Obuganda.