Ab'e Mbale basabye Museveni ebintu 10 bamuyiire obululu

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu mu kulonda kwa bonna mu 2021.

Pulezidenti Museveni amaze ennaku ssatu ng'atalaaga ebitundu bye Bugisu okunoonya akalulu okusobola okuddamu okuwangula entebe y'Obwapulezidenti. Yasookera mu kibuga Mbale gye yasisinkanira abakulembeze ba NRM okuva mu distulikitti okuli Bududa, Namisindwa, Manafwa, ne Mbale era nga yakomekkerezza okunoonya akalulu e Bugisu ku Lwokuna e Sironko gye yasisinkanide n'abakulembeze b'e Bulambuli.

EBINTU BYE BAAGAALA AKOLE
l Okubaddiza ebyabwe byonna obufuzi bwabwe obw'ensikirano, n'ettaka gavumenti kwe yateekako bbalakisi ne ofiisi za gavumenti ezimu.

1. Baagala ku misolo gye bakungaanya e Bugisu okuddiza ku mukulembeze waabwe ow'ensikirano okusobola okwekulaakulanya.

2.  Okubazimbira olubiri lw'obwakabaka waabwe Umukuka.

3.  Ekibira ekiri wakati mu kibuga ky'e Mbale okusengulwa ekibuga kisobole okugaziwa n'abantu bafune we bakolera.

4. Okwongera okusembeza Abagisu n'okubawa emirimu mu ofiisi za gavumenti.

5. Engeri e Bugisu gy'eri ensozi eziwerako n'ebyobuwangwa ebyenjawulo nga okusala Imbalu, baagala ekitundu ky'e Bugisu kifuulibwe ekyobulambuzi nga kino kigenda kuyamba ku gavumenti okwongera okuyingiza ssente eziva mu byobulambuzi.
lIndustrial Park y'e Mbale okwongerwamu amaanyi kiyambe mu kulwanyisa ebbula ly'emirimu.

6. Gavumenti eyongere okutuusa amasannyalaze e Bugisu n'okubayambako okwongera okuyiikuula ebyobugagga eby'omu ttaka mu kitundu kyabwe.

7.Okubakolera enguudo okuli olwa; Nalugugu - Budadiri, Kufu - Nambola - Magale, Bubulo - Bududa Circular, Mbale - Nkokonjeru, Simu-Pond - Buluganya n'endala.

Ebikonge Mu Nrm Ebyayanirizza Pulezidenti Museveni E Mbale Gye Yabadde Ng'ayigga Akalulu

8.  Okwongera okubawa endokwa z'emmwaanyi ennungi, okubafunira akatale n'okubayambako okuzongerako omutindo.

Ebintu bino Abagisu baabitisse omukulembeze waabwe ow'ensikiraano Umukuka III Owebamasaba Jude Mike Mudoma ne Minista ow'ebyamasannyalaze n'obuggagga obw'omu ttaka ate nga ye mubaka omukazi owa disitulikiti ya Manafwa Mary Goreti Kitutu.

Ate ssentebe wa NRM ku kyalo kya Busulani e Sironko yasabye Pulezidenti asalemu distulikiti y'e Sironko nti nnene nnyo abantu abamu tebafuna buweereza.
Enjawukana mu ba NRM nazo zaayogeddwaako era omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Mbale mu palamenti, Connie Galiwango yasabye Pulezidenti okubatuuza agonjoole ensonga eno.