Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

Museveni

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba ayingire mu nsonga eno.

Mu 2019 Pulezidenti Museveni yawaayo obuwumbi 11 okuyamba abasomesa okweggya mu bwavu kyokka kigambibwa nti abakulira ekitongole kya Micro Finance Support Center mwe baayisa ssente zino zaabulankanyizibwa.

Nelson Mwanda omusomesa e Busia yategeezezza Lt. Col. Edith Nakalema owa Anti-Corruption Unit nti embeera gye balimu nzibu kubanga amasomero gaggalwa.

Abasomesa okwogera bino babadde basisinkanye Nakalema e Kaazi - Busabaala mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu Wakiso gye bali mu kutendekebwa naddala eby'obukulembeze.

Mu September w'omwaka guno abakungu basatu okuli akulira ekitongole kino John Peter Mujuni, ow'ebyensimbi John Mwebembezi ne Jalia Birungi avunaanyizibwa ku kuwola ssente baasimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa okubulankanya ssente zino.

Ate omusomesa Joan Asiimwe Baryaruhaga yagattibwako nga kigambibwa nti ono ku akawunti ye kwe kwayitanga ssente zino. Abasomesa 300 be babadde e Kaazi nga basoma ku bukulembeze ne mwoyo gwa ggwanga.