Obujiji n'okubinuka mu kampeyini

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze esannyu nga bwe babinuka. Mu beesimbyewo mwe muli Yoweri Museveni owa NRM, Robert Kyagulanyi owa NUP, Patrick Amuriat owa FDC, John Katumba n'abalala. Wabula ate mwabaddemu n'amaziga olwa abo abaakubiddwa ttiyaggaasi.

Abawala Ba Nup Abeeyita Nup High School Bongedde Ebirungo Mu Kampeyini Bwe Baabadde E Kasese.

Amuriat Oboi (mu Bigere) Ngaa Yeegasse Ku Batuuze Mu Arua Mu Kunywa Kkwete. Guno Gwe Mwenge Ogw'ettunzi Mu Arua.

John Katumba Nga Bamukunguzza Okumuggya Mu Kibuga Iganga Gye Yabadde Agezaako Okwogerera Kyokka Nga Si Gye Yaabaadde Alina Okubeera.

Abawagizi Ba Nup Nga Basitudde Munnaabwe Eyasesebbuddwa Ebigere Akakebe Ka Ttiyaggaasi E Kasese.