Be battidde abantu baabwe mu bya Bobi bakyali mu maziga

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa kw'ebya Bobi Wine, akyatenda entiisa eyamubuutikira, abajaasi ba UPDF bwe baakuba mutabani we ono essasi mu kamwa n'agwa wansi n'afiirawo ng'alaba.

"Buli lwe nteeka omutwe wansi ndaba abajaasi ba UPDF nga basindirira omwana wange omulenzi gwe mbadde nnina yekka essasi mu bulago, ng'ate mukutte ku mukono era sirowooza nti nnyiinza okuddamu okwesembereza omujaasi yenna kubanga ndabira ddala abatemu," Bwatyo Hajarah Nakitto, omutuuze w'e Namasuba Kikajjo bwe yategeezezza.

Nakitto nga yenna amaziga gamuyitamu, yalombozze ekisiraani ky'abajaasi ba UPDF bwe batugumbula omwana we ng'alabira ddala.
"Nakeera ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga bamaze okukwata Bobi Wine ne tugenda okukola mu maaso g'ekizimbe kya "Ham Grounds e Nakivubo" gye ntundira engoye. Olw'okuba sizoni ya Ssekukkulu, nnasalawo okugenda ne mutabani wange annyambeko okunoonya e 100 era kino tukikoledde wiiki bbiri zokka," Bwatyo Nakitto bwe yalombogyedde Bukedde ennaku ye.

Ayongeddeko nti zaali ziweera ssaawa 9:00 ogw'olweggulo n'alaba ng'embeera mu kibuga etabuse kwe kuggalawo edduuka n'akwata mutabani we ku mukono ne batambula okuva ku Ham Grounds okugenda mu ppaaka ya USAFI.

Yagambye nti bwe baali batuuka nga ku Kalittunsi baagenda okulaba emmotoka okwali abajaasi ng'eggya ekuba amasasi ne bawanika emikono waggulu, wabula ng'anywezezza omwana we omukono ogumu era agenda okulaba ng'agwa wansi ng'afuuwa omusaayi okuva mu kamwa.
"Nawunga kubanga bwe nakutatama okumuyoolayoola, nnagenda okulaba nga bamukubye essasi mu kamwa era we yafiira." Bwatyo Nakitto ng'amaziga gamuyitamu bwe yategeezezza.

Yagambye nti okuva lwe baaziika omwana we e Kinoni ku Lwokutaano, takyebaka kuba nga buli lwe yewunzikawo alaba ng'abajaasi bamukuba amasasi nagugumuka.

Omugenzi Amos Ssegawa (ku Kkono) Ne Omugenzi Shafic Kamoga

SHAFIC KAMOGA 25: Ono abadde mutuuze w'e Makindye mu ‘Barracks zone" era ng'ayiga bwa makanika ng'abeera ne mukulu we Eddie Kamoga naye atenda abamagye bwe batemula muto we ng'alaba.

"Twakeera ku Lwokuna ne muto wange ono Shafic Kamoga ng'omusujja gumuluma ne mugulira amakerenda era twasiiba mu nnyumba nga tugaddewo ng'atya okumukuba amasasi kubanga gaasiiba gatokoota mu kitundu kyaffe kino.

Wabula bwe bwali bugenzegenzeeko twafuluma okugula ebintu ku dduuka era ye yagenda nakomawo n'agenda ayimirirako mu mulyango okulaba ekigenda mu maaso ng'okwekalakaasa kukkakkanye, wabula yali yaakayimirira mu mulyango, kabangali y'amaggye n'eyitawo omujaasi n'avaako n'afukamira wansi n'amusindirira amasasi mu bulago.

Twamutwala mu ddwaaliro e Nsambya n'omuzira kisa Henry Ssaalongo Mukema, n'afa nga twakamutuusaayo. Twamuziise Kyotera ku Lwokutaano.

Abafiirwa bombi basaba omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko Gen. Yoweri Museveni okubaliyirira obulamu bw'abantu baabwe.

Omukungu okuva mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu, (Human Right Commission), Juliet Logose, ku Lwokuna yagenze mu maka g'abazadde ba Ssegawa ne muganda wa Kamoga ne ttiimu ye n'abaggyako sitetimenti era n'abasuubiza okufuna obwenkanya kubanga teri muntu ali waggulu w'amateeka.