Kasasa ebbanja lw'eddwaaliro limuggye ku kitanda ayimbire Mbidde mu kampeyini

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro.

Omuyimbi ono era omuzannyi wa firimu z'Ebinnayuganda Ssaalongo Dissan Kasasa obwetaavu bwa ssente tebumuganyizza kusooka kuwona bulungi ebiwundu by'akabenje akamukomezza ku mugo gw'entaana.

Kasasa avudde ku kitanda mu ddwaaliro ekkulu e Masaka gy'ajjanjabirwa ebisago n'addayo ku siteegi okuyimba okuyimbira munna DP Fred Mukasa Mbidde avuganya ekifo ky'omubaka wa Paalamenti owa Nyendo-Mukungwe mu Masaka City.

Kasasa Ng Bamuyoolayoola Okumutwala Mu Ddwaaliro

Kasasa Nga Yaakatomerwa Bodaboda

Kasasa Ng'ayimba Mu Lukungaana Lwa Mbidde

Kasasa Ng'ayimba Akutte Ku Muwagizi Wa Mbidde.

Mbidde Ng'azinira Abawagizi Be E Masaka.

Kasasa akabenje yaakafuna wiiki ewedde mu kabuga k'e Mpugwe bwe yatomerwa bodaboda ng'ava ku siteegi okuyimbirako Mbidde. 

Yategeezezza nti Mbidde yamupatana era nga akasente kamuwa kalina okukozesa okusasula ebbanja ly'eddwaaliro.

Mu lukiiko Mbidde lw'akubye mu kabuga k'e Matanga azze ne Kasasa  n'akakasa abawagizi nti teyafudde kuba Katonda y'alabye ng'akyalina  ekkatala ly'okusanyusa abantu be.

Mbidde abasabye bamusindike mu Paalamenti abalwanirire kw'abo abayinza okulibatwalako ettaka mu lukujjukujju.