Muka Muzaata ataddewo obukwakkulizo okudda mu ddya

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata yalwala n'aweebwa ekitanda nga mukazi we tali waka.

Ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli Sheikh Siliman Ndirangwa yawadde Bamaseeka abakulu obuvunaanyizibwa okutabaganya Muzaata ne Nabunya.

Kigambibwa nti bakkaanyizza ne Nabunya addeyo kyokka naye n'ateekawo
obukwakkulizo.

Kigambibwa nti Nabunya ayagala wabeewo okweyama mu buwandiike, Muzaata obutaddamu kumuboggolera n'okumucunga ng'omwana omuto.

Ekirala ensonga zaabwe ez'omu nju, Muzaata aleme kuziyingizaamu b'ebweru. Kigambibwa nti Muzaata bw'abaako ebimunyiiza ku mukazi we atuukirira abantu be yeesiga n'abayitiramu mu nsonga okumuwa amagezi ate bwe balwawo okukkaanya
Nabunya alabira awo nga waliwo abayingiddewo okubatabaganya.

Ekirala Nabunya ayagala Muzaata okukomya okumulangira. Kigambibwa nti Muzaata ajjukiza Nabunya ebintu by'amukoledde bukya amuwasa ng'alinga alaga nti
amuyambye okumutuusa ku ddaala ly'aliko.

Muzaata yawasa Nabunya nga muwala muto yaakamala S4 n'amuweerera okutuuka e
Makerere gye yatikkirwa diguli mu byenjigiriza. Bwe yamala okusoma, Muzaata
n'amufunira omulimu mu KCCA wansi wa Jennifer Musisi. Kati Nabunya akolera mu KCCA mu munisipaali ya Kampala Central.

Babeera Kawempe mu zooni ya Keti - Falawo. Nabunya agamba nti naye alina
bingi by'akoledde Muzaata okuli okumulabirira. Kigambibwa nti Muzaata talabirikika kubanga yeeyisa Kirangira nga buli kintu kimukolerwa nga bw'akyagala ate mu budde. Okugeza bw'amala okusaala swala ya Subuhi ku makya nga busaasaana, addayo
mu buliri ne yeebaka.

Agolokoka ku ssaawa 3:00 ez'enkya kyokka nga buli kintu kiteekwa okuba nga kiwedde. Amazzi agookya mu kinaabiro, emmere n'ebyokunywa nga biri ku mmeeza,
engoye nga zigoloddwa, engatto nga zikubiddwa eddagala.

Nabunya okutuukiriza bino yeefiiriza otulo kubanga alina okugenda ku mulimu
buli lunaku kyokka ng'asoose kuteekateeka bba Muzaata.

Kigambibwa nti ensonga endala enyiga Nabunya, Muzaata akozesa ensonga z'obufumbo bwabwe n'azoogera ng'ayigiriza abafumbo abalala oba n'abaako by'ayogera mu butambi bwe obusasaana ng'asomesa ebyobufumbo.

Kigambibwa nti wadde Muzaata emirundi mingi aba tayogera ku bya maka ge kyokka olw'okuba ensonga z'abafumbo abasinga zifaanagana olwo Nabunya n'alowooza nti omukulu ayogera bya mu bufumbo bwabwe. Kyategeezeddwa nti Nabunya ayagala ekyo Muzaata akikomye.

Omu ku bamaseeka abakulu e Kibuli yategeezezza nti Nabunya yakkirizza okudda ewa Muzaata kyokka asooke akkirize obukwakkulizo mu buwandiike.

Wabula ab'e Kibuli baawabudde Nabunya agende ajjanjabe Muzaata ebirala
birikolwako ng'assuuse.

Ensonda zaagambye nti Nabunya yasabye ensonga zireme kupapirwa kubanga mu kiseera kino ne bw'anaddayo tajja kujjanjaba Muzaata butereevu kubanga mu
ddwaaliro tekkirizibwa bantu.

Ku ddwaaliro yassiddwaayo ekitabo abagenda okulaba Muzaata mwe bawandiika amannya n'obubaka.

Nabunya bwe twamutuukiridde ku ssimu yagiggyeeko bwe twamweyanjulidde
ng'aba Bukedde.