
Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa nnamutikwa w'enkuba efudembye mu kiro ekikeesezza olwaleero okuleka ng'amayumba gaabwe egatikkuddeko obusolya.
Mu birala ebyonooneddwa mwe mubadde omuzikiti gw'e kitundu oguyitibwa Masigid Madinah nagwo yagutikkuddeko akasolya era ebintu bya bukadde ne byonooneka.
Ssentebe w'ekitundu kino Edward Bbossa asabye abasobola okuvaayo bayambe abantu bano.