Liigi y'ebikonde ejulidde

Yusuf Babu owa COBAP ng'atwalira Paul Kayondo (Lukanga) eng'uumi.

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw'ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisazizzaamu liigi yaakyo.

Liigi eno, ebadde eyokutandika nga December 12, yasaziddwaamu lwa bbula lya nsimbi, ne yeegatta ku mpaka endala UBF z'esazizzaamu olw'ensonga y'emu.

Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF yagambye nti beesanze mu kaseera akazibu okutegeka empaka ez'enjawulo kuba bamaze emyezi munaana nga tebafuna ssente kuva mu Gavumenti.

"Twasemba okufuna ensimbi eziva mu NCS mu March. Tetusobola kutegeka liigi kuba eggwanika lyaffe kkalu," Muhangi bw'annyonnyola, n'agattako nti ku nsimbi obukadde 125 ze balina okufuna buli luvannyuma lwa myezi esatu, baaweebwako obukadde 13. Liigi eno yasemba okuzannyibwa mu 2016 n'ewangulwa Lukanga Boxing club.