Bp. Lwanga avumiridde abeekalakaasa

Bp. Lwanga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nakaggwa. Mu ggomesi wakati ye Zziwa.

SSAABASUMBA Dr. CyprianKizito Lwanga avumiridde abantu abeekalakaasa ekivaako okulumya abalala n'ategeeza nti balumya Bannayuganda bangi abatalina kye bamanyi okuli n'okwonoona bizinensi z'abantu ng'ate ezisinga ziyimiriddewo ku looni.

"Ekikolwa ky'okwekalakaasa kibi eri ensi yaffe," Ssaabasumba bwe yagambye. Yakubirizza Bannayuganda naddala abavubuka abeenoonyeza ebyabwe nga beekalakaasa, okwonoona ebintu by'abantu, n'okuluutinga, okwekuba mu mitima ate
n'okukomya ebikolwa eby'effujjo.

Yabadde ayogera ku nsasagge eyaliwo mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo abantu mwe beekalakaasiza gye buvuddeko.

Bino Ssaabasumba Lwanga yabyogedde ayigiriza mu Sacred Heart of Mary Cathedral Lubaga ku Lwokutaano, mu kusabira omwoyo gw'omugenzi eyali omusomesa w'Eklezia okumala emyaka 30, Maria Josephine Nakaggwa Mugerwa abadde nnyina w'eyali sipiika owookusatu owa East African Legislative Assembly (EALA) mu Arusha, Margaret Nantongo Zziwa Babu. Yatenderezza omugenzi olw'obuweereza obulungi eri Eklezia, ensi ye ate n'okukuza obulungi abaana be omuli ne Nantongo Babu n'abalala.