Aba NRM basabye poliisi obutalemesa Bobi Wine kukuba kampeyini ze

Achile (owookubiri ku kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Asooka ku kkono ye Kyomya ate owookubiri ku ddyo ye Mandera Nsubuga.

ABAKULEMBEZE b'abavubuka mu kibiina kya NRM mu ggwanga bawanjagidde poliisi okukomya omuze ogw'okulemesanga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okunoonya akalulu kubanga kino kijja kutta obuwagizi bw'ekibiina kyabwe.

Bino baabyogeredde mu lukuηηaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku Yunivasite e Makerere ku Lwokuna ne balaga nti buli poliisi lw'egaana Kyagulanyi okunoonya akalulu mu bitundu gy'aba alina okubeera baba battattana kifaananyi kya Pulezidenti Museveni wano mu ggwanga ne mu nsi yonna.

Mandera Nsubuga omu ku bakulembeze b'abavubuka ba NRM mu Kampala yagambye nti bo nga bannakibiina balina obuwagizi mu ggwanga lyonna n'amaanyi, Kyagulanyi ne bwe bamuleka n'anoonya akalulu mu mirembe era tasobola kuwangula Pulezidenti Museveni.

Achile Twaibu akulira ekibiina ekigatta abavubuka abawagira NRM mu ggwanga ekya NRM- Youth League yagambye nti abantu abakuze mu myaka beefunzizza nnyo Pulezidenti Museveni ate ng'abamu tebalina mbavu zigobagana na Kyagulanyi eyeesigamizza kampeyini ze ku bavubuka ne banenya abakulembeze abamu obutasoosowaza bavubuka mu kunoonyeza Museveni akalulu.