'Pulezidenti tuyambe ku muganda waffe akozesa offiisi yo okutubbako ekibanja'

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde Pulezidenti Museveni okubataasa ku muganda waabwe, Hakimu Rukenge.

Ono bamulumiriza  nti akozesa obuyinza bwe bagamba nti abuggya mu maka g'obwapulezidenti okwekomya ettaka kitaabwe lye yabalekera erisangibwa ku kyalo Kabale Cell mu ggombolola y'e Birere mu Disitulikiti y'e Isingiro.

Abaana bano abaasangiddwa ku Kkooti Enkulu ey'e Mbarara gye baddukidde okubataasa,
bagamba nti Rukenge ajja n'abaserikale baamagye nga yeeyita omu ku bayambi ba pulezidenti ku byokwerinda n'atuuka n'okugobaganya abantu bebaaguza ku kibanja.

Omusango guno guli mu maaso g'omulamuzi Joyce Kavuma era nga gwayongezeddwaayo
okutuuka nga December 13, omulamuzi lw'anaawa ensala ye.

Rukenge bwe yatuukiriddwa Bukedde yategeezezza nti talina ky'ayinza kwogera ku bintu ebiri mu kkooti, balinde ensala yaayo.