
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bussa nnyo ekitiibwa mu bufumbo ng'eno y'emu ku nsonga emubeeza ku mikolo bwegiti kubanga buli muntu afuna obufumbo,kyakwanguyiza Buganda okudda ku ntikko amangu.
Yeebazizza Mw. Semei Wessaali olw'okuwasa era n'asaba abafumbo bano nti "Obufumbo bujja kubeera ekyo kye banaayagala bufuuke.
Wessaali y'emumyuka w'omukungaanya w'amawulire ga Bukedde olupapula era y'akungaanyako n'Agataliiko Nfuufu ku Bukedde TV.
Omukolo guno ogubadde ku kkanisa ya Kireka SDA CHURCH mu Ssabaddu Kira, Wakiso mu Kyadondo gwetabiddwako ebikonge bingi.