
Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti .
Mu distulikiti y'e Iganga ayanirizidwa mu ssanyu ku kisaawe ky'essomero lya Municipal Primary School gyasisinkanidde abakulembeze ba NRM mu kitundu kino okubakunga okumunoonyeza akalulu akanaamuwanguza obwapulezidenti mu 2021.