Famire z'abattiddwa mu kwekalakaasa biibino bye baagala Museveni abakolere

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yali e Luuka mu Busoga. Pulezidenti yalaze omuwendo gw'abantu abattibwa mu butongole baali 54.

Kyokka abattibwa nga tebaali mu kwekalakaasa bali 22 nga bano Gavumenti egenda kuliyirira famire zaabwe. Abasasi ba Bukedde boogedde ne famire z'abantu bano ne balaga bye baagala Museveni abakolere bwe bati;

TWAGAL A GAVUMENTI  ETWETONDERE

OMUSOMESA John Kitobe 71, yali abeera mu Naalya Housing Estate amasasi gaamusanga ku kizimbe kya Mabirizi Complex okusisinkana bannamateeka be.

Mutabani we Michael Mwebaze yategeezezza nti, nga ffamire baagala Gavumenti esooke ebeetondere ate eky'okugamba nti, egenda kubaliyirira, y'emanyi ssente z'egenda okubawa kubanga teri ssente zisobola kugula bulamu bwa muntu "Muzeeyi yalina obuvunaanyizibwa bungi ate bagenze okumutta yali yawummula ng'akola bibye", Mwebaze bwe yategeezezza.

Omugenzi yakolerako mu bifo ebyenjawulo nga yali musomesa mu ttendekero Uganda Managment Institute (UMI), Agricultural Enterprises Ltd. omusomesa mu Makerere yunivasite era yakulirako ebyensimbi mu Uganda Red Cross .( Bya Moses Lemisa)

Nnamwandu W'omugenzi Kitobe (mu Katono).

‘BANZIMBIRE ENNYUMBA NKULIZEEMU ABAZZUKULU'

JALIYA Namakula maama wa Juma Ssendagire 27, eyakubiddwa amasasi e Kyebando, atandise okubonaabona oluvannyuma lwa mutabani we okufa nga kati landiroodi amugoba mu nnyumba gy'abadde amupangisiza.

Namakula agamba nti Ssendagire y'abadde amusasulira ennyumba 100,000/- buli mwezi mu Nsooba e Kyebando. "Nnannyini nnyumba olwategedde nti abadde agipangisa attiddwa ammanja emyezi esatu mu maaso", Namakula bw'agamba.

Ssendagire abadde akolera mu katale ka Semiguwa ku Kaleerwe amasasi gaamukutte mu lubuto ebyenda ne biyiika bwe yali ava okulaba nnyina Namakula e Kyebando ng'adda ewuwe e Kanyanya.

Namakula agamba nti, mu kiseera kino yeeraliikirira olwa bakazi ba Ssendagire abasatu be yaleka okumusuulira abaana abawera bataano kubanga bakyali bawala bato abalina aokutandika obulamu obupya.

"Abakazi abo y'abadde abapangisiza era basigadde mu bbanga. "Yadde Pulezidenti Museveni agamba nti, agenda kutuliyirira naye tewali ky'ayinza kukola kisinga bulamu bwa mutabani wange kubanga mbadde mulinamu essuubi ddene.

Njagala gavumenti engulire ekifo enzimbiremu ennyumba mwe nsobola okukuliza bazzukulu bange. Bonna bakyali bato nga balina okulya, okwambala, okusoma gattako obujjanjabi", Namakula bwe yasabye.

Abaana bano okuva kitaabwe lwe yattibwa baazira emmere era bayongobevu. Tetulina buyambi bwonna bwe twali tufunye okuva mu Gavumenti wadde poliisi okututuukirira ng'eriko ky'ebuuza. Wabula twali munnaku ate ne batusaba ssente okusobola okutuwa omulambo gwe baali balemedde mu ggwanika .
Babadde balina okunnongoosa eddookooli nga byonna bitunuulidde Ssendagire.

Namakula N'abamu Ku Ba Baana Ssendagire (mu Katono) Eyattiddwa.

EBY'OKULIYIRIRA SAAGALA KUBIWULIRA - NNAMWANDU

NNAMWANDU wa ssentebe e Luweero eyattibwa ng'akkakkanya abaali beekalakaasa agambye nti okuliyirira abattirwa abaabwe baliyirirwe, tekiyinza kwenkana bulamu obwagenda.

Regina Nansubuga eyasangiddwa mu makaage e Kasaala yagambye nti bba Richard Mutyaba 42, yattibwa agenze okukkakkanya abeekalakaasi era ne bwe bagamba okumuliyirira tebayinza kwenkana bye yandikoze nga mulamu.

Mutyaba yali ssentebe w'ekyalo Kasaala mu ggombolola ya Luweero era nga ye yali Ssaabakristu w'ekigo kya Kasaala.

Nansubuga yagambye nti, "Kye mmanyi okuliyirira kitegeeza kuzzaawo kintu
ekyayonoonebwa naye obulamu tebuzzikawo era teri muwendo gw'obugeraageranya sso ng'oli okumuliyirira tekitegeeza kukola mugenzi by'abadde akola n'enteekateeka z'abadde nazo eri amakaage era ebyo gavumenti tebisobola."

Yagambye nti eby'okuliyirira tayagala na kubiwulira kuba akyalina ennaku ku mutima ey'okuviibwako bba mu ngeri ey'entiisa n'abantu abalala abakyagenda mu maaso n'okutirimbulwa n'okutulugunyizibwa n'agamba byonna yabirekedde Katonda kuba y'ayinza byonna. ( Bya Sarah Zawedde)

Nnamwandu Nansubuga Ate Mu Katono Ye Mugenzi Mutyaba.