Gavumenti etuliyirire obuwumbi 9 olw'abaana baffe abattibwa

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya nti obulamu tebugulwa era alina kubaliyirira buwumbi okubanyiga ebiwundu.

Hajarah Nakitto maama wa Amos Ssegawa abadde omuyizi wa Lubiri High School Buloba agamba nti n'okutuusa ssaawa zino talina ky'asobola kukola nga n'ebyokwebaka yabivaako dda kubanga buli kiseera abeera agugumuka ng'alaba omwana we bamukuba ebyasi.

"Omwana wange baamukuba mmukutte ku mukono tuyingira mu ppaaka ya takisi eya USAFI. Yafa nga ndaba!", Nakitto bwe yategeezezza.

Yagambye nti omwana we abadde mugezi mu kibiina ate ng'alina n'ekitone eky'okusamba omupiira ng'ali mu ttiimu y'essomero.

"Ssegawa nakeera naye okunywa caayi nga bw'an-nyumiza by'agenda okunkoleera ng'akuze era okusinziira mu bulamu bwe mbadde nsuubira okubeeramu ng'omwana wange amaze okusoma kuno kwe nsinziira okusaba gavumenti endiyirire obuwumbi butaano.

Ssente zino hhenda kuzimbaako amaka nve mu muzigo, nkole bizinensi kubanga sikyasobola kuddamu kutuula mu dduuka gye mbadde nkolera nnina ensisi.

Eddie Ne Shafick Eyattibwa (mu Katono).

Shafick Kamoga 25, mukulu we Eddie Kamoga agamba nti, "Muto wange Shafic Kamoga yali yasoma okutuuka mu S4 n'atandika okuyiga okukanika ttivvi era abadde akuguse ng'afunye n'omukazi ali olubuto.

Mu mbeera eyo wadde obulamu tebugulwa twetaaga obuwumbi buna bwe busobola okutunyiga ebiwundu n'okulaba nga tusobola okulabirira mukyala we n'omwana gw'agenda okuzaala.

Kitaffe yatuzaala abaana 32 naye mu maama wa Shafic Kamoga y'abadde omwana omukulu era nga y'aweerera banne kubanga kitaffe kati akadiye takyalina ky'asobola kukola.

Twagala obuwumbi buna okusobola okunyiga bazadde baffe ebiwundu n'okulabirira ebbujje lye. Naye wadde bagenda kutuliyirira tusaba Pulezidenti Museveni akome ku bajaasi ne poliisi ku kutta abantu mu kiseera kino kubanga omuntu ne bw'omuwa obuwumbi abeera toyinza kumwerabira kubanga ssente bakola nkole.
( Bya Joseph Mutebi)