
Gen Katumba Wamala ategeezezza nti omugenzi abadde mukwano gwe nnyo ng'era bwe guba muti omuvule gwe gwagudde mu kibira.
Yagasseeko Muzaata abadde avaamu ebigambo ebikaawa ng'omususa naye nga bizimba ng'era n'ebwoba obadde mukwano gwe n'okola ensobi ng'akugamba gwe osalawo oba ogitereeza oba omunyiigira kyokka ye abadde tasiba busungu
Yagasseeko nti wiiki bbiri n'ekitundu nga Muzaata tannalwala yamusisinkana ng'alina ensonga zaamubuulira ezikwatagana n'ekifo kye awali amaka ge. Yagambye nti okufa kwa Muzaata kuwe abantu ekyokuyiga nti balina okukomya okwewalana
"Lwaki mulimba Katonda nti mumwagala nnyo nga baliraanwa bammwe mu bawalana! Mbasaba mukomye empalana kuba tewali amaanyi lunaku lwaligenda,'' Katumba Wamala bwe yategeezezza
MUFTI NDIRANGWA
Ntuusa okusaasira kwange eri Obusiraamu n'eggwanga lyonna olwokufiirwako omuntu abadde atambulira ku mazima , Muzaata ye musajja abadde ateerya ntama nga Basheikh bonna mu ggwanga abalekedde ebbanja nga balina okufuna okulaba nga batambulira kw'ebyo by'azze ababuulirira.
NABBIRA SSEMPALA
Nabbira Ssempala avuganya ku kifo ky'obwaloodi meeya wa Kampala:Sheikh Muzaata muyigiddeko ebintu bingi. Nze buli lwe mbadde nfuna ekinsumbuwa nga mukubira akasimu. Muzaata ye muntu eyasooka n'okumanya nti ngenda kwesimbawo ku bwa loodi Meeya , amazima Muzaata abadde musajja nnyo mu buli nsonga .
MADIINA NSEREKO
Madiina Nsereko Commissioner w'ebyettaka: Maama waffe yafa 2011 n'atulekera Muzaata ng'omukuza amazima w'afiiridde ng'omulimu gw'obukuza agukoze bulungi kuba abadde atukubira ku ssimu n'atubuuza nti baana bange muli bulungi kale tusaba Mukama ammuwuze mirembe.
EDRISA TENYWA
Edrisa Tenywa avuganya ku kifo ky'obw'obubaka bwa palamenti mu Kawempe South: Omugenzi kasita yazuula nti tweddira omuziro gumu abadde ampita mutoowe. Muzaata abadde tasosola mu bibiina byabufuzi, mu ddiini kuba n'Abalokole babadde mikwano gye, nsaba abantu tumuyigireko .
MULUMBA
Matthias Mulumba avuganya ku kifo ky'obubaka bwa palamenti mu Kawempe yagambye nti Muzaata ye musajja abadde tanyigirwa mu ttooke ng'emisana n'ekiro takyukakyuka mu bigambo naye okufa kwe ffenna kutukubye wala.