Engeri gye baakozesezza mukwano gwa Zebra Ssenyange 'Mando' okumulondoola

Zebra ku (ddyo) ne Madiina Nsereko kamisona w’ebyettaka ku mukolo ogumu gye buvuddeko.

ENGERI GYE BAAKOZESEZZA MUKWANO GWE OKUMULONDOOLA

Kigambibwa nti, waliwo mukwano gwa Zebra Ssenyange gwe baayiseemu okubatuusa mu maka.

Mukwano gwe ono (amannya gasirikiddwa) nti bwe yatuuse awaka nga Zebra taliiwo n'amulondoola n'akitegeera nti yabadde akyali ku kifo ekisanyukirwamu ekiyitibwa Lita-Lita e Bwaise we yabadde alabira omupiira gwa Arsenal ne Brighton ogwawedde ng'essaawa zikunukkiriza 5:00 ez'ekiro.

Omupiira bwe gwawedde, Zebra n'adda awaka era kigambibwa nti yabadde amaze okwekengera embeera eyabaddewo era n'abaako obubaka bwe yaweerezza mikwano gye ng'abategeeza nti alaba abaserikale bangi mu kitundu naye tamanyi kye beetaaga mu kitundu.

Ssenyange yabadde yaakatuuka awaka nga yaakatuula ku ttivvi, n'atandika okuwulira enswagiro ebweru. Bwe yawulidde abasajja nga bakoona ennyumba olwo kwe kuyita emmanju agezeeko okwetegula ekibabu; wabula oluvannyuma ne bamutta.

Kigambibwa nti awo wonna, mukwano gwa Ssenyange eyabadde akwataganye
n'abatemu yabadde akyali nabo, kyokka ‘misoni' olwawedde, n'abulawo.

Abantu Nga Baggya Omulambo Gwa Zebra Mu Ggwanika E Mulago.

Tekinnamanyika oba mukwano gwa Ssenyange yamuliddemu lukwe oba yakakiddwa bukakibwa ng'ateekeddwa ku mudumu gw'emmundu.

KIKI EKYASSIZZA ZEBRA SSENYANGE
Ssentebe Ssekirime agamba nti, abatemu baatuuse ku kitundu ng'obudde bukyali era baakozesezza mmotoka bbiri kika kya Toyota Drone enjeru era baalabiddwaako nga balawuna ekitundu bwe baabadde tebanamutta.

Yayongeddeko nti, baawulidde amasasi nga gavuga ne balowooza nti poliisi yabadde erina ababbi b'egoba.

Yayongeddeko nti, amasasi olwasirise ng'essaawa zikunukkiriza okuwera 6:00 ez'ekiro, yawulidde enduulu okuva mu maka ga Ssenyange n'alowooza nti, osanga baabadde bafunye obutakkaanya ne balwana.
"Oluvannyuma omutima gwankubidde kubanga ebbanga lye mmaze ku kyalo kuno, mbadde siwulirangako luyombo lwonna mu maka ga Ssenyange." Ssekirime bwe yannyonnyodde ku byabaddewo.

Yagambye nti abasse Ssenyange baabadde tebalaga kabonero konna keekengera bakwasisa mateeka era abaalabye emmotoka ku kitundu obwedda balowooza nti za
babyakwerinda kubanga ekika ky'emmotoka ezo kitera okukozesebwa ebitongole
by'ebyokwerinda ebimu.

Abamu bagamba nti Ssenyange abadde alina ebibinja by'agugulana nabyo mu Kawempe ate ng'ebimu bikolagana nnyo n'abamu ku bali mu byokwerinda.

Abalala obwedda bagamba nti waliwo ddiiru eyalimu Omuyindi egambibwa nti
yatabula Zebra Ssenyange n'abasajja abalala abaagirimu nga kigambibwa nti babadde
bamwewerera. Mulimu n'abaabiyingizzaamu ensonga z'ebyobufuzi nga bateebereza nti osanga zirina akakwate ku butemu obwo.

Ssenyange abadde n'abavubuka abakubi b'ebikonde baatendeka nga bapangisibwa nga bakanyama ku mikolo egy'enjawulo nga waliwo ne bannabyabufuzi ababakozesa okubakuuma.

Ono, kigambibwa nti, abadde muwagizi wa NRM kyokka ng'akolagana ne bannabyabufuzi mu bibiina ebirala b'abadde afunira bakanyama okubakuuma.

Mwabaddemu n'abaagambye nti Zebra yabadde ategeezezza banne ku kitundu nga bw'agenda okusisinkana Pulezidenti Museveni era nga bateebereza nti osanga yabadde alina ebyama bye yabadde agenda okumutegeeza nga byabadde birina be biteeka mu
buzibu nga kiteeberezebwa nti osanga be baakoze pulaani emusaanyaawo nga
tannasisinkana Pulezidenti.

Abakungubazi Nga Babubabudaabuda Nnamwandu.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwaano, Luke Owoyesigyire
yagambye nti, Ssenyange baamuttidde mu mmita nga 400 okuva ku maka ge, nti era bagguddewo ffayiro SD 03/30/12/2020 okunoonyereza ku ttemu lino.

Fayiro ku kutemula Zebra eri Kawempe era Owoyesigyire yagambye nti
baatandise dda okunoonyereza.

Omulambo gwa Ssenyange gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago abasawo ne bakakasa
nti yattiddwa masasi.

Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa e Lugogo ku kisaawe kya MTN Arena
banne okumukubako eriiso evvannyuma era olwamaze ne bagutwala mu maka ge e
Bwaise nga bwe battaanya enteekateeka z'okuziika.

Pulezidenti Museveni yasaasidde nnamwandu ne ffamire olw'ekikangabwa kino.