Bawanze omuliro mu kuziika Zebra Ssenyange

Abaziisi nga baaziiranira ku ntaana ya Zebra.

OKUZIIKA Ssenyange ‘Zebra' kwabaddemu okuwanda omuliro wakati wa bannabyabufuzi n'abakubi b'ebikonde abaalumirizza ebitongole by'ebyokwerinda okutandika okutta n'okuggalira bannaabwe awatali nsonga nnambulukufu.

Pulezidenti w'ekibiina ekigatta abakubi b'ebikonde Moses Muhangi y'omu ku baatadde akaka n'agamba nti, "Twagala mutunnyonnyole lwaki abakubi b'ebikonde batandise okuttibwa ate abalala babuzibwawo mu ngeri etategeerekeka.

Mukimanyi bulungi ffe abeebikonde tetuli bannabyabufuzi era tusaba mutubuulire kye twakoze ekivuddeko bannaffe okuli Ssenyange okuttibwa mu bukambwe", Muhangi bwe yagambye.

Isaac Ssenyange ‘Zebra' yakubiddwa amasasi mu mutwe n'afiirawo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu era yaziikiddwa ku Lwokuna e Masuuliita - Kakazibwe mu Wakiso.

Mu kutta Ssenyange, abaserikale abaamusse baakutte munne Robert Mukasa Mugwanya ‘Soja Man' ne babulawo naye era gy'akuumirwa tewamanyiddwa.

Aba ffamire ya Soja Man nabo baasoose kusattira oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti omuntu waabwe naye yattiddwa, omulambo ne gusuulibwa e Bombo, wabula bino poliisi y'e Luweero yabisambazze n'etegeeza nti tewali mulambo gwonna gwazuuliddwa Bombo.

ABEEBIKONDE ABALALA ABABUZIDDWAAWO
Abeebikonde abaakakwatibwa kuliko; Justine Jjuuko eyaliko kyampiyoni w'ensi yonna poliisi gwe yategeezezza gye buvuddeko nti yakwatibwa ku bigambibwa nti yali atendeka abayeekera n'okuyigiriza abavubuuka emmundu.

Abalala ye Joseph Lubega ‘Joey Vegas' eyaliko kyampiyoni wa Afrika, Mudde Ntambi, Yusuf Babu ngono ali ku ttiimu y'eggwanga ne Nicholas Katongole ono yayimbuddwa.
Ssenyange y'omu ku babadde batendeka abaana ebikonde, nga y'atendeka ne ttiimu ya Lukanga Boxing Club ne ttiimu ye eya Zebra Boxing Club.

Wabula wakati mu Mmisa abawagizi ba NUP baafunye obutakkaanya n'aba NRM nga buli ludda lugamba nti Zebra abadde waabwe.

RCC wa Kawempe Hood Hussein yagambye nti Ssenyange abadde mmemba wa NRM era ng'ayamba okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu kitundu, kyokka Mmeeya wa Kawempe Emmanuel Sserunjogi eyeetisse obubaka bwa Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine'.

Yagambye nti Ssenyange abadde mukwano gwa Bobi Wine ng'omuntu, ng'awagira enkyukakyuka mu ggwanga era nga y'atendeka n'abamu ku bakanyama abakuuma Kyagulanyi nti era ku by'akoledde eggwanga bagenda kumubbulamu oluguudo oludda e Nabweru.

Abeebikonde baategeseewo n'ebikonde ebyazannyiddwa ku ntaana okusiima Ssenyange by'akoledde omuzannyo gw'ebikonde.

Pulezidenti Museveni yakubagizza n'ensimbi 10,000,000/- ne poliisi nayo n'ewaayo ssente 10,000,000. Omugenzi yalese Nnamwandu Mercy Mukankuusi n'abaana basatu.