Jamirah owa Bukedde TV Emikolo n'Embaga azadde ssukaali n'awaana bba

Jamirah ng’akutte ekimuli ekimukulisa bbebi bba kye yamuwadde. Wano ng'ali mu ddwaaliro.

ESSANYU ly'omuzadde omukyala yenna kugenda mu sannya n'avaayo nga ye n'omwana
we balamu bulungi. Embeera eno mwana muwala Jamirah Nampeera Ssebuguzi gy'alimu oluvannyuma lw'okuzaalira bba Jafaali Ssebuguzi abangi gwe bamanyi nga JJ owa JJ Events ssukaali.

Wadde nga baamulongoosezza, Jamirah aweereza pulogulaamu y'emikolo n'embaga ku
Bukedde TV 1 gwe twasanze mu ddwaaliro ly'e Nakasero gye yazaalidde eggulo ku Lwokusatu yagambye nti bombi n'omwana bali mu mbeera nnungi.

Jamilah Ne Bba Ssebuguzi.

Ono eyabadde abugaanye essanyu yasoose kwebaza bba Ssebuguzi obwedda gw'awaana
nti "Ssebuguzi omu bwati" nga bw'alaga ekimuli kye yamuwadde okumwebaza okumuzaalira n'agamba nti amubeereddewo nnyo mu mbeera gy'abadde ayitamu.