Abalwanidde ku ofiisi zakakiiko k'ebyokulonda banyiga biwundu

Mukwano gwa Namyalo ng'amujjanjaba mu ddwaaliro. Namyalo aliko ebiwundu mu kifuba ne ku mukono era azimbye ne mu maaso.

ABANTU balwanidde ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda e Kayunga era abamu babuuseewo na bisago, kati bali mu malwaliro bajjanjabibwa.

Bano olwakitegedde nti obululu obugenda okukubibwa nga January 14, 2021 n'ebikozesebwa ebiralala bituuse badduse okutuuka mu kifo kino gye baasanze bannaabwe abaabasooseyo.

Ekyasinze okubatwala ge mawulire agaasaasaanye nti bbokisi omuli ebikozesebwa zaatuuse nsumulule olwo abavuganya ku bifo bya palamenti buli omu n'asindika abantu be.

Bwe baatuuze baasanze ebintu biyingiziddwa mu sitoowa olwo ne bateeka ab'akakiiko ku nninga baggulewo sitoowa beetegereze era buli omu yaguze kkufulu ng'ayagala y'aba aggala sitoowa  ekyagaaniddwa olwo okulwana ne kutandika.

DPC wa Kayunga, John Lukooto agamba nti yalabye embeera esajjuse kwe kuyita basajja be abazze n'aba UPDF olwo embooko ne zinyooka wabula nti teyategedde oba basirikale be be baakubye abantu okutuuka okubaleeta ebisago oba bbo bennyini be beekubye.

Fatuma Namyalo omuwagizi wa Birungi Jacqueline ayagala ekifo ky'omubaka omukyala yakubiddwa katono bamutte era alina ebisago ku mubiri gwonna nga ne feesi ebuliddemu era ajjanjabirwa ku Jonathan medical Center mu Kayunga.

Namyalo alumiriza poliisi n'abasirikale ba UPDF okumukuba era bwe yagudde wansi ne bamulinnyalinnya n'afuna ebisago mu kifuba, ku bbeere, n'ebitundu by'omubiri ebirala.

Abantu bavumiridde effujjo lya poliisi eryabakoleddwaako era basaba abakulu mu poliisi okukangavvula abaserikale abaakoze kino.

Akulira eby'okulonda e Kayunga, Rashid Musinguzi agambye nti bbokisi z'obululu bbiri zokka ze zaabadde zisumulukuse wabula ab'ebyokwerinda n'abamu ku beesimbyewo baayitiddwa ne balaba nga tewali mbeera etiisa.

Musinguzi akakasizza nti ebintu byonna ebinaakozesebwa mu kulonda n'obululu biri bulungi era abeesimbyewo baabakkirizza ne bateekawo abantu baabwe abakola obwa kalabaalaba ku bululu era abamu basiibawo ate abalala ne basulawo.

Kati kkufulu z'enziji ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda bazikyusizza enkadde ne baziggyako.