Ffamire y'oweebikonde eyabuzibwawo etadde poliisi ku nninga

Abamu ku baana ba Lubega (mu katono). Ku kkono ye mukyala we Nakiberu.

FFAMIRE y'omuggunzi w'eng'uumi Joseph Lubega ‘Joey Vegas' eyabuzibwawo abagambibwa okuba abeebyokwerinda esaba poliisi n'amagye bibawe omuntu waabwe nga mulamu oba nga mufu.

Kiddiridde Lubega okukwatibwa nga December 28 omwaka oguwedde ng'agenze okuziikirako mukwano gwe ng'okuva olwo teri amanyi mayitire ge.

Allen Nakiberu mukyala wa Lubega ow'oku kyalo Namalere - Kabaganda e Kagoma - Kawempe omu ku baakuliddemu okubanja omuntu waabwe, yategeezezza nti mu kiseera kino atubidde n'abaana ba Lubega bana era ali mu kutya olw'obulamu bwa bba.

Asabye ebitongole by'ebyokwerinda Lubega bw'aba alina omusango gwe yazza aleetebwe mu kkooti awozesebwe.

"Ndi mu kaseera akakyasinze obuzibu mu bulamu bwange kubanga simanyi oba taata w'abaana bange mulamu oba yattibwa, nsaba gavumenti ennyambe emuyimbule," Nakiberu bwe yalaajanye.

Nakiberu yeegattiddwaako mukulu wa Lubega, Charles Ssemakalu ne mwannyina Prossy Nalubega abagamba nti basobeddwa olwa muganda waabwe okubula.

Jamir Segawa, ssentebe w'ekyalo eyakuliddemu abatuuze abaagala munnaabwe ateebwe yagambye nti, "Tuli mu kiyongobero kuba Lubega y'omu ku batuuze ababadde batuyambako okukuuma obutebenkevu ku kyalo."