Okupangisa ebyeyambisibwa mu kuyiwa enkokoto kukola ssente

Ebimu ku byeyambisibwa okuzimba ebipangisibwa.

OLW'ABAZIMBA bangi okwettanira kalina olw'obufunda bw'ebifo n'obukwakkulizo bw'abaddukanya ebibuga obubakaka buli azimba okuba ng'adda waggulu, bbo abapangisa ebyuma ebyeyambisibwa mu nkokoto bakola ssente.

Wadde nga bizinensi eno erabika ng'eya ssente ennyingi okugitandika bangi bagisobola. Ssente obukadde nga 50 z'oyinza okuteeka mu kuzimba emizigo etaano egy'abapangisa zisobola okutandika bizinensi y'ebyuma ebikwatagana n'enkokoto.

OKIKOLA OTYA?
Ebyuma bino okuva ku bitabula enkokoto (concrete mixers) ebigikkatira (vibrators) ebigiwanika waggulu (Elevators) biyinza okupangisibwa awamu oba okutwalako ekimu okusinziira ku bwetaavu obubeerawo.

BBEEYI YAABYO:
‘Concrete mixer' zitandikira ku bukadde 8 ezikozeeko okutuuka ku bukadde 25 ate Vibrator okuva ku mitwalo 50 okudda waggulu ng'osobola okufuna ekozeeko ate Elevators zo zikolebwa mu byuma bya wano ne baziteekako jjenereeta nga zisinziira ku buwanvu bwa kizimbe ekigenda okuyiibwa enkokoto nga zigattibwa. Kubukadde nga butaano ofuna okuli jjenereeta ennungi.

SSENTE Z'OKUPANGISA EBYUMA BINO:
Bwe biba bigattiddwa wamu byonsatule bipangisibwa wakati wa 200,000/- ne 230,000/- olunaku lumu ate abipangisizza y'abitambuza n'okubiguliramu amafuta.

Okupangisa Mixer yokka ya 80,000, Vibrator 30,000/- ku 50,000/- ate yo Elevator ku 120,0000/- buli lunaku.