Mwannyina w'omuyimbi Jovan Luzinda bamusse

Bagabo ne Ngabire nga bakyali mu mukwano.

ABATUUZE b'e Nabbingo mu Kagugube zooni baakeeredde mu ntiisa, abafumbo bwe baatabuse omusajja n'atuga mukazi we n'amutta.

Kigambibwa nti Bonifansi Bagabo yafunye obutakkaanya ne mukyala we Sharotte Nana Ngabire 32, nga buva ku kumugaana kutunda ttaka okuli amaka gaabwe.

Ngabire mwannyina w'omuyimbi wa Da Nu Eagles Jovan Luzinda ng'omusajja agambibwa okumutta babadde bamaze mu bufumbo emyaka 10 nga balina n'abaana babiri.

OBUZIBU KWE BWAVA
Luzinda yagambye nti obutakkaanya bubadde buludde nga n'ab'oku kyalo baabamanyiira era nga ne bwe basitula oluyombo babaleka kubanga bakimanyi nti lumala ne lukakkana.

Yagambye nti, emyaka ebiri emabega abafumbo bano baafuna obutakkaanya ne baawukana Ngabire n'ava awaka n'afuna omuzigo gy'apangisa n'abaana n'abaggyawo n'abatwala ewa jjajjaabwe. Kigambibwa nti Bagabo yali agezezzaako okumutta.

Bagabo yali aludde ng'aperereza Ngabire batunde ennyumba n'ettaka eriri e Mityana kyokka n'agaana ng'agamba nti ennyumba ya baana be tasobola kukkiriza kugitunda.

Kigambibwa nti kino kye kibadde kivaako olutalo olutatadde nga waliwo ne bwe yamukuba n'ayisibwa bubi ddala.

Ngabire bwe yava mu ddwaaliro abantu baamuwa amagezi asooke aviire omusajja era naye n'akikola n'afuna omuzigo.

Kigambibwa nti Bagabo bwe yalaba Ngabire asibyemu ebibye, mu nnyumba n'awasizaamu mukwano gwa Ngabire fanfe nga mu kiseera kino ali na lubuto.

Ngabire olwakimanya n'addukira mu kkooti n'aloopa Bagabo okwagala okutwala
ebyobugagga by'abaana be ng'ate baabikola bombi.

Kkooti yayisa ekiragiro ekisaba mukwano gwa Ngabire gwe baali bawasirizza mu maka okugaamuka bunnambiro era n'eragira Ngabire okudda mu maka ge n'abaana be.

Ku Ssekukkulu, Ngabire yatwala ekiwandiiko kya kkooti ku poliisi ya Kagugube n'aweebwa abaserikale abaamuyamba okugoba omukazi Bagabo gwe yali yawasiza mu nnyumba, Ngabire n'agiyingira n'abaana be.

MUWALA WAABWE AYOGEDDE EKYABADDEWO
Keeza Queen Lucky 9, muwala wa Ngabire yagambye nti baawulidde maama waabwe ng'ayita muliraanwa maama Mugabe okumutaasa kyokka bwe baakonkonye oluggi n'ataggulawo ate oluvannyuma n'asirika ne balowooza nti bamaze okuyomba.

Baakedde ku makya nga taggulawo era baakizudde luvannyuma nti yattiddwa.
Solomon Kanyike, nga ye ssentebe wa Namagoma B Kakungulu agamba nti obutakkaanya bumaze emyaka nga esatu okutuusa omukazi bwe yanoba, Bagabo n'awasa omulala era omukazi bwe yakimanya n'agenda mu kkooti eyamuwa olukusa okudda mu maka ge.

Bagabo yakwatiddwa n'aggulwako omusango gw'okutta omuntu ng'ali n'omukozi w'awaka ayitibwa Eli Zze Ntazianira ku fayiro nnamba SD/EF/03/11/01/2020.