Aba FBI bagudde mu lukwe lw'aba Trump okuddamu okwekalakaasa nga Biden alayizibwa

Abaserikale nga bakutte omu ku beekalakaasi mu kwekalakaasa okwakaggwa. Mu butono ye Biden ne Trump.

EKITONGOLE kya Amerika ekikessi ekya FBI kitegeezezza nga bwe kigudde mu lukwe lw'abawagizi ba Pulezidenti b'eggwanga eryo, Donald Trump bwe bategese okwekalakaasiza mu masaza gonna 50 nga January 20, 2021, Joe Biden eyawangula Trump lw'agenda okulayizibwa.

Okugwa mu lukwe luno kiddiridde FBI okukwata abamu ku beekalakaasi abeenyigira mu kwekalakaasa ku Palamenti ya Amerika okuwakanya ababaka okukakasa Biden ku buwanguzi bwe yatuukako mu kalulu k'Obwapulezidenti akaakubwa nga November 3, 2020 ne baboogeza.

Ekitongole kya Federal Bureau of Investigations (FBI) ekiketta munda mu Amerika kyalabudde nti abeekalakaasi bategeka kutandika misoni yaabwe nga January 19, basule mu bikujjuko nga bawakanya okulayizibwa kwa Biden olwo enkeera basonjole ekintu nga bakituusa ku ntikko.

Okusinziira ku mawulire ga Associated Press, FBI egamba nti abeekalakaasi ku luno bategese okukikola n'emmundu zaabwe ku migongo nga beerinze poliisi n'amagye singa banaabatambaala bubeefuke.

Ekigendererwa kya kulaga nsi nga Trump bwe yalina obuwagizi obungi singa teyabbibwa kalulu.

Omu ku baduumizi w'eggye lya Amerika erya National Guard, Gen. Daniel Hokanson yategeezezza nti balinze abeekalakaasi bakolebweko ng'amateeka bwe galagira n'abalabula obutetantala.

Ku Capitol Hill, Biden w'agenda okulayirira baayise abagenyi batono olw'obulwadde bwa COVID-19 n'olwebyokwerinda kyokka era abawagizi ba Trump bakyalowooza kulumba balemesa omukolo wadde guliko buli kika kya byakwerinda.

Trump yakunga abeekalakaasi ku Lwokusatu abaalumba Palamenti ng'agamba nti Biden baamubbira obululu. Kino yakikola oluvannyuma lw'amagezi gonna okuwakanya ebyava mu kulonda okumuggwaako.

Kye baakola ku Palamenti, kyanyiiza Abamerika kumpi bonna abaamulonda n'abataamulonda kubanga kyali tekibangawo era ab'ekibiina kya DP abawagira Biden ne batandika okutema empenda okumugyamu obwesige wadde abuzaayo wiiki ng'emu yokka okuva mu ntebe.

Olukiiko lwa Palamenti olusalawo okumuggyamu obwesige lwatudde mu Palamenti esookerwako eya House of Representatives ne lukuba akalulu era we bwazibidde ng'ababaka abasoba mu 200 ku 450 bamaze okukkiriza agobwe.

Bwe kinaayita kigenda kutwalibwa mu lukiiko olukulu olwa Senate kiddemu okukubwako akalulu ku babaka 100 abalimu okuzuula oba ddala agobwe.

Akalulu akaasooka okukubwa mu 2019 okugoba Trump olw'okukozesa obubi ofi isi, Palamenti esooka yamukasuka, enkulu eyali esingamu ab'ekibiina kye ekya Republican ye yamutaasa.

Ku luno, DP y'esinga ababaka abangi mu Palamenti esookerwako ate mu Palamenti
enkulu benkanya ababaka.