Ffamire y'eyafiiridde mu kaduukulu etadde poliisi ku nninga

Ssentamu

ABA ffamire batadde poliisi ku nninga ebannyonnyole engeri omuntu waabwe gye yafiiridde mu kaduukulu kaayo ate ne bamuziika mu limbo e Bukasa nga tebabagambye.
Denis Ssentamu 34, kigambibwa nti, yafiiridde mu kaduukulu ka poliisi y'e Kagugube e Makerere gye yali yaggalirwa nga December 24, 2020.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Ssentamu bwe yafa, baayita omulamuzi okuva ku kkooti ya LDC e Makerere n'akola ebbaluwa omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Owoyesigyire yagambye nti, Ssentamu baamukwata ku misango gy'obubbi bw'emipiira gy'emmotoka wabula nga December 26, baafuna amawulire nti yali afiiridde mu kaduukulu.

Yagasseeko nti, etteeka libalagira singa omusibe afiira mu kaduukulu, bayita omulamuzi ku kkooti eri okumpi n'akakasa olwo omulambo ne bagutwala mu ggwanika era nabo kye baakola kyokka aba ffamire bwe baalwawo okulabika ab'eggwanika ne baguziika.

Kyokka enfa ya Ssentamu etankanibwa era Owoyesigyire yagambye nti, bagguddewo ffayiro ku kufa kwe era okunoonyereza kwatandise dda.

Kigambibwa nti, Ssentamu abadde akola obwa makanika yalwanagana n'omu ku batuuze n'ayisibwa bubi bwe baamutwala mu kaduukulu n'afa.

Nnamwandu Prossie Nakandi yategeezezza nti yasemba okulaba bba nga December 24 ng'agenda ku mulimu. Yagambye nti, okufa kwa bba baakutegedde ku Lwamukaaga nga January 9, 2021 ne bagenda ku ggwanika gye baabategeerezza nti baamuziika mu limbo e Bukasa.

Oluvannyuma Ssentamu yaziikuddwa mu limbo e Bukasa n'atwalibwa ku kyalo, Zikudi e Kakiri mu disitulikiti y'e Wakiso gye yaziikiddwa. Yalese abakyala babiri n'abaana babiri.