Eby'omuwala eyakwatiddwa ku by'okumubbako omwana biranze

Nakyazze agambibwa nti yabiddwaako omwana.

OMUKAZI eyakwatiddwa ku by'okubbibwako omwana mu takisi bimwonoonekedde, poliisi bw'ezudde nga tazaalangako ng'abadde akozesa mwana wa mukama we gw'abadde akolera obwayaaya okulimba omusajja nti yamuzaalira ng'ayagala kumufunirako ssente.

Poliisi y'oku Kaleerwe, yakutte Halima Nakyazze 20, ow'e Kazo bwe yabadde agenze okuloopa omusango gw'okumubbako omwana we gwe yazaalira Bernard Kalungi 24, omuvuzi wa takisi mu Kampala - Mpererwe.

Okumukwata kiddiridde Miriam Ato akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe okukuba ebituli mu sitatimenti ye nga kiraga alina ky'amaanyi ku kubbibwa kw'omwana.

Kino kyawalirizza abaserikale okumukwatira ku poliisi y'e Wandegeya ne bamukunya era n'abategeeza nti, tazaalangako kubanga n'olubuto Kalungi lwe yamufunyisa lwavaamu naye olw'okuba yali amuwa obuyambi, yagaana yalaba nga bw'amugamba ayinza okukomya okumuwa obuyambi.

                     Kalungi Gwe Baalimba Omwana.

Oluvannyuma maama yafunira Nakyazze omulimu gw'obwayaaya e Kazo ng'akolera Bannakenya ng'eno bwe yabalamu ebbanga ly'olubuto kwe kukozesa bbebi waabwe okumulimbirako nti gwe yazaalira Kalungi.

Nakyazze mu kusooka yagambye nti, yabadde ava e Kayunga mu takisi, bwe baatuuse ku Kaleerwe omwana n'amukwasa omukazi gwe yabadde naye mu takisi agende yeetaawuluzeeko era nti yagenze okudda ng'omukazi abuze. Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF: 17/08/01/202

Ng'ali ku poliisi yakaabye okulaga abaserikale ne muganzi we nti, alumiddwa okumubbako omwana. "Maama ye yaluka olukwe lwonna kyokka olutegedde nti bankutte n'adduka.

Ye yakubidde ne Kalungi n'amutegeeza nti omwana we bamubbye ng'alaba nti, afaayo, Kalungi nsaba ansonyiwe nja kumuzaalira owuwe" Nakyazze bwe yategeezezza.