
OMUSUUBUZI aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa.
Yasin Kasibante akola ogw'okusiba ente mu lufula y'oku Kaleerwe y'akwatiddwa poliisi y'omu kitundu oluvannyuma lwa Anet Namwanje alina wooteeri mu lufula omuwaako obujulizi nga bwe yamuggyiddeyo ekiso amufumite n'akuba enduulu bantu ne mutaasa.
Namwanje yagambye nti Kasibante yamusabye caayi ku ssaawa 2:00 ez'ekiro bwe yamugambye nti amuddeko n'atandika okumuwemula ssaako n'omukuba n'amwasa emimwa yalabye tekimumalidde n'amuggyiraayo ekiso okumufumita.
Kasibante yategeezezza nti kituufu Namwanje yamukubye n'ekiso yakimuggyiddeyo naye yabadde tagenda kumufumita nga bwamulumiriza.
Yagasseeko nti y'akuuma olugo omusula ente naye waliwo abavubuka abaagufuula omuze okutwalayo abawala ne beerigomba nga yabadde amaanyi nti Namwanje kye kimututte kwe yasinzidde okumukuba.
Geoffrey Ssenonga omu ku bakulira ebyokwerinda mu lufula yategeezezza nti Kasibante azze akwatibwa lwa kuggyirayo bantu biso nga luno singa tebaamwanguyidde yabadde agenda kufumita Namwanje awatali nsonga nnambulukufu.
Yalabudde abakinjagi bonna okukomya okukozesa ebiso ng'eky'okulwanyisa eri abantu kuba ekiso kisala nte si bantu. Omusango guli ku Fayiro nnamba SD REF:18/5/01/2021