Ab'e Bamunanika beeraliikiridde ku minisita Muyingo

Minisita Muyingo ng'annyonnyola.

FAMIRE ez'enjawulo mu Bamunanika bali mu kwekubagiza olwa minisita Dr. John C. Muyingo okuwangulwa mu kalulu ekimulemesezza okudda mu palamenti. Beebuuza oba ddala anaayongera okubakulaakulanya naddala okubaweererera abaana nga bw'abadde akola.

Abatuuze bagamba nti kino kiyinza okusannyalaza pulojekiti minisita z'abadde abakolera mu kitundu naddala ey'ebyenjigiriza.

Ssentebe w'ekyalo Kakoola ayitibwa Ponsiano Mugabi yategeezezza nti abavubuka abaavudde e Kampala abatayagala kuwuliriza n'okumanya pulojekiti ziyimirizaawo kitundu be baabakoze ekigambo.

"Omusajja abadde atusomeseza abaana abasoba mu 347 buli mwaka nga bayingira siniya esooka. Tulina LC 1 mu Bamunanika wokka eziwera 247 kyokka yalagira nti buli kyalo ayagalako omwana omu asinze banne mu bigezo bya P7 amuweerere," Mugabi bwe yagambye.

Ate Ssentebe wa LC I owa Kasolo Kitobola ayitibwa Godfrey Tumukunde yagambye nti Dr. Muyingo y'abadde ayimirizzaawo abakadde.

Yagambye nti, aba bodaboda ku siteegi ez'enjawulo abadde abawadde ppikpipiki nga ne mu biseera bya corona emmere we yafuukira enzibu, yaliisa bangi.

Abadde asikira b'e Buweeke ne Kasolo amasannyalaze ng'ebikondo bisimbiddwa. Ssentebe Tumukunde yasabye Pulezidenti Museveni asse ku bbali byonna ebyabaddewo mu kulonda abayambe ng'abatuuze b'e Bamunaanika akkirize ayongere Dr. Muyingo ekifo okumusobozesa okugenda mu maaso n'okubayamba abatuuze.

DR. MUYINGO AYOGEDDE
Dr. Muyingo yagambye nti, ye agenda kwongera okuweereza ekitundu kye ekya Bamunanika mw'azaalibwa era omuli abantu be b'ayagala ennyo n'ekkanisa. Yagambye nti akkiriziganya n'engeri ab'e Bamunanika gye baasazeewo.

Yagambye nti emyaka 10 agezezzaako okukozesa obusobozi bwe, okutumbula n'okuzimba omusingi gw'ebyenjigirira mu Bamunanika. N'ayongerako nti abadde asomesa abavubuka, ayamba abakadde n'okwenyigira mu pulojekiti ezigatta abantu naddala ku mazzi n'amasannyalaze.

Yagambye nti kati agenda kusinga kwemalira ku bintu ebiyamba eggwanga lyonna okusinga ekitundu ekimu. Yategeezezza nti agenda kukola ekibiina nga kitwala ggwanga lyonna mw'agenda okuyisa obuyambi bw'abadde awa Bamunanika yokka.

Dr. Muyingo yawanguddwa omuvubuka wa NUP ayitibwa Robert Ssekitoleko. Ono kigambibwa nti yayitira mu mikono gya Dr. Muyingo eyamuweerera n'amaliriza emisomo ate n'amuyambako okuba kansala mu kitundu ekyo.