Abaamasaza batolotoomye lwa fayinolo kwongezebwayo

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu
Egyazannyiddwa ku semi;
Busiro 0(4)-0(5) Gomba
Bulemeezi 0-1 Buddu

OBWAKABAKA bwa Buganda bwongezzaayo fayinolo y'empaka z'Amasaza ne baleka abazannyi n'abakungu ba ttiimu nga batolotooma.

Fayinolo ebadde yaakubeerawo leero (Lwomukaaga) e Njeru, wabula yayongezeddwaayo n'ekigendererwa ky'okusobozesa Obwakabaka okwongera okugitegeka obulungi.

Okusinziira ku mumyuka wa ssentebe w'akakiiko akaddukanya empaka zino, Sam Mpiima, "Obwakabaka bwagala kutema empenda ku ngeri entuufu gye buyinza okuteekerateekera bannabyamizannyo naddala abalina akakwate ku mpaka zino omukolo omulungi y'ensonga lwaki fayinolo yayongezeddwaayo."

BATOLOTOOMYE;
Bino we bijjidde ng'abazannyi, abakungu n'abawagizi ba Gomba ne Buddu bacacanca olwa ttiimu zaabwe okwesogga fayinolo y'omwaka guno era nga batandise oku
gyebugira.

Gomba yawanduddemu Busiro ku peneti 5-4 oluvanyuma lw'eddakiika 90 okukomekkerezebwa (0-0) ate nga Buddu yakubye Bulemeezi (1-0) eyateebeddwa Titus Ssematimba.

Aba ttiimu ezaatusse ku fayinolo bagamba nti ekyakoleddwa akakiiko, kya kubongera mugugu gw'okunoonya ssente ezikuumira abazannyi mu nkambi mu biseera bino eby'ekirwadde kya corona ekyongedde okukalubya ebyenfuna mu ggwanga.