Gwe baasibira e Kitalya awangudde obwakkansala e Kawempe

Nsubuga ng’ali mu kkooti e Masaka.

OW'EKIBIINA kya NUP eyasibwa mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yasangibwa ne magaziini ezibaamu amasasi, awangudde obwakkansala e Kawempe.

Muhammad Nsubuga y'omu ku bawagizi ba NUP abaakwatibwa ku misango gy'okusangibwa ne magaziini z'emmundu ezigambibwa nti zaazuulibwa okumpi n'omulyango gwe.

Abawagizi ba Nsubuga nga bakulisa maama we Zaituni Ndangire olw'obuwanguzi buno.



Nsubuga abadde avuganya n'abantu 11 okuli Salasi Kyobe, Abasi Kibe, Noah Mukwaya
n'abalala ng'abawagizi be olwafunye amawulire g'obuwanguzi bw'omuntu waabwe ne beeyiwa mu maka ga bazadde be okubakulisa.

Moses Mutebi Konkomebbi kitaawe wa Nsubuga yategeezezza nti ffamire ye ya NRM nga Nsubuga ye yasalawo okugenda mu kibiina kya NUP, ng'abadde avuganya
ku bwakkansala bw'omuluka gwa Makerere lll e Kawempe nga yawangudde
zooni zonna omukaaga ezikola omuluka okuli; Ssebina zooni, Ddobbi, Kiggundu, Good
Hope, Kibe ne Mayinja. Konkomebbi yagambye nti amaanyi gali mu bantu abaalonze mutabani we.