Ekiraamo kya Zizinga kiwuunikirizza abakungubazi

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira.

Mu kiraamo kino yagaana okumwabiza olumbe, okumuteerako omusika n'okumukolako emikolo n'obulombolombo bw'ekkinnansi n'agamba ye mukazi mulokole omuzuukufu.

Maj. Zizinga yafiiridde ku myaka 85 mu ddwaaliro lya Medipal e Kololo ng'abadde
abeera mu Zzooni ya Kayiwa e Namirembe okuliraana Ekkanisa ya Namirembe Christian Fellowship.

Nga bwe yalagira nti ekiraamo kisomebwe mu lujjudde mu Kkanisa ku mikolo gy'okumuwerekera, era bwe kyakoleddwa, omu ku booluganda lwe, Catherine Ntulume bwe yazze n'ekiwandiiko mu Lutikko e Namirembe kye yasomye n'ategeeza nti omugenzi, abadde nnamwandu w'omugenzi William Zizinga era yakola ekiraamo kye emyaka esatu egiyise n'alagira kireme kumenyebwa.

               Rev. Mereewooma

Mu kiraamo kino, yategeeza nti yazaalibwa mu 1936 ku kyalo Ndejje mu Bulemeezi era n'afumbirwa William Zizinga nga November 28, 1953 e Kkungu ne bazaala abaana 10 kyokka bba yamufaako mu mwaka gwa 2016.

Yategeeza nti mu 1960 yalokoka ne yeegatta ku nzikiriza y'Abalokole Abazuukufu abali wansi w'ekkanisa y'Abakristaayo mu Uganda.

Wabula yalagira nti bw'abanga afudde omubiri gwe tegukolebwangako bulombolombo bwonna era tayabizibwanga lumbe wadde okumuteerako omusika.

Yalagira aziikibwe kumpi ne bba e Kitungwa mu Divizoni y'e Gombe mu Wakiso. Yategeeza nti entaana ye yagyesimira dda okuliraana bba era n'alagira Abakristaayo Abazuukufu ab'e Matugga be baba bakulira entegeka zonna ez'okumuziika.

Mu kusaba eggye lya UPDF lyakiikiriddwa Lt. Gen. Pecos Kutesa wamu n'omulungamya w'ebyobufuzi, Brig. Gen. Henry Masiko n'omwogezi Flavia Byekwaso.

Mu kwogera, Omulabirizi w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira yagambye nti Zizinga abadde mukazi mmekete eyalwana entalo bbiri, olw'okubeera Omulokole kyokka era n'asalawo okwegatta ku bayeekera era n'asigala mu nzikiriza ye okutuusa
lw'afudde.

 Abaana B'omugenzi Okuli Nnalongo Nsimbe, Nsubuga Ne Lamecka.               

ABAKULEMBEZE MUBEERE KU MAZIMA
Mu kusaba okwabadde mu kkanisa ya St. Philip Kitungwa Church of Uganda e Kitungwa mu Gombe, atwala obusumba bw'e Kireka, Rev. Abel Serwanja Mereewooma yasabye abakulembeze okwogera amazima ate bakole ebintu ebitwala eggwanga mu maaso.

Mereewooma yategeezezza nti abakulembeze balina okubeera ekyokulabirako ate boogere ebintu ebiyamba omuntu waabulijjo ssaako n'eggwanga lyonna.

Yagambye nti Maj. Zizinga yamulaba ekiseera we yabeerera omusumba w'e Mwereerwe nga yagenda okujja ng'amasomero g'ekkanisa gali mu mbeera mbi
bwe yassaawo amateeka ge Abakulisitaayo ne bamuwawaabira ewa Zizinga olw'okubanga ekiseera ekyo yali wa maanyi mu ggwanga nga buli muntu amutya.

Kyokka olw'okwagala okutumbula amasomero g'ekkanisa yalagira buli muzadde okuliisa abaana baabwe ku ssomero. Yali amanyi agenda kumutabukira kyokka naye yabuulira abazadde amazima n'abagamba nti waliwo ensonga ezirina okukolebwa buli muntu era n'agamba nti omukulembeze yenna alina okwogera ekituufu okusinga okwekweka mu bantu baabwe.

Mereewooma era yagambye nti omugenzi Zizinga wadde abadde abeera mu kyalo naye abadde akulaakulanyizza ekitundu kye ssaako n'ekkanisa.

Omugenzi Zizinga yazaala abaana 10. W'afiiridde aleese abaana bana bokka abalamu.