Uncle Money asingiddwa omusango ogw'okutta omuntu

Uncle money Jackson Ssewanyana ku kkono ne Benson Ssenyonga nga bali mu kaguli

KKOOTI ya Buganda Road esingisizza omuwagizi w'omupiira lukulwe,  Jackson Ssewanyana amanyiddwa nga Uncle Money omusango gw'okutta omuntu mu butanwa.

Uncle Money nga y'amyuka ssentebe wa Kasubi Zooni 4 omusango gumusinze n'owebyokwerinda Benson Ssenyonga.

Bano baakuba Akirm Siraje Tumusiime gwe baali bateebereza okuba omubbi w'essimu n'afa.

Ettemu lino lyaliwo nga August 16, 2019 e Kasubi bwe baakwata Tumusiime ne bamusiba akandooya ne bamutwala mu musiri gwa lumonde ne bamukuba emiggo nga kwe bagasse n'okumusamba.

Abantu abaalaba Uncle Money ng'amukuba be baaloopa  omusango ku poliisi y'e Namungoona eyajja okumukima kyokka n'afiira mu ddwaaliro e Mulago olw'obuvune obwali bumutuusiddwaako.

Oludda oluwaabi lwaleese abajulizi mwenda  bonna nga balumiriza nti baalaba Uncle Money ng' akuba.  Ate Uncle Money mu kwewoozaako naye n'aleeta abajulizi bana kyokka balemeddwa okumatiza kkooti nti Uncle Money ne munne tebeetaba mu ttemu lino.

Omulamuzi Miriam Okello Ayo  agambye nti bwe yeetegereza obujulizi abajulizi bonna balaba bulungi Uncle Money ekitegeeza nti yazza omusango guno.

Looya wa gavumenti, Timothy Amerit asabye omulamuzi asibe Uncle Money ne munne emyaka 30, bakulembeze bannaabwe abazza emisango basobole okulabira ku bbo.

Omulamuzi Okello agambye nti ekibonerezo waakukimuwa ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo olwaleero.