Poliisi etandise okunoonyereza ku bazze bawambibwa

Minisita Jeje Odongo (ku kkono) omuduumuzi wa poliisi Okoth Ochola oluvannyuma lw’okwogera eri abaamawulire ku kitebe kya poliisi e Naggulu eggulo.

POLIISI etandise okunoonyereza n'okuzuula abantu abazze bawambibwa n'okubuzibwawo mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo.

Okunoonyereza kuno poliisi yakutandikidde ku bajaaasi bana okubaako bye bannyonnyola ku bantu abazze babuzibwawo n'okukwatibwa mu kitundu kya Mukono North mu kulonda okwakaggwa.

Kino kyaddiridde poliisi okukwata abajaasi bano abagambibwa nti baatwalibwayo Minisita avunaanyizibwa ku mazzi, Ronald Kibuule, ng'abantu abaasinga okukwatibwa ne babuzibwawo be babadde bawagira munnamateeka Abdul Kiwanuka gwe baali battuka ne Kibuule mu kalulu.

Minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga, Gen. Jeje Odongo, yagambye nti mu kitundu kya Mukono North waliwo abajaasi bana abaakwatiddwa abagenda okuyambako mu kunoonyereza ku bantu abaabuzibwawo mu kitundu kino naddala mu biseera by'okunoonya obululu ne mu kulonda.

Wabula Minisita Odongo eyabadde n'omuduumuzi wa poliisi mu lukungaana lw'abaamawulire beesanze mu kaseera akazibu, abaamawulire bwe baabasoyezza ebibuuzo ku bantu abazze bakwatibwa n'okubuzibwawo mu mmotoka ezaakazibwako erya ‘Drone' okubalwisaawo okubatwala mu kkooti.

Minisita mu kwanukula yasabye abaamawulire baleete okukakafu ku baakwatiddwa ne bamuwa amannya gaabwe okuva mu bitundu ebyenjawulo n'agawandiika mu kitabo kye.

Yagasseeko nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso ku misango gyonna poliisi gye yaakafuna egy'abantu abaabuzibwawo okulaba nga batuuka ku ntikko y'ensonga eno.

Yagambye nti okunoonyereza kukolebwa ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango ekikulirwa Grace Akullo era nga tebalina kukupapira kuba kulimu okukungaanya obujulizi obuwera nga n'okunoonyereza ku fayiro ya Isaac Zebra Ssenyange kweri.

TWEKENNEENYA EBIGAMBO EBYOGERWA KYAGULANYI
Minisita Odongo yagambye nti ebitongole by'ebyokwerinda byekenneenya n'okusengejja ebigambo ebyogerwa eyavuganya ku bwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu okulaba oba waliwo ebiyinza okutabangula emirembe.

Yagambye nti ebitongole by'ebyokwerinda weebiri okwanganga yenna anaagezaako okutabangula emirembe era anaakwatibwa nga yeenyigidde mu bikolwa ebimenya amateeka kaakumujjuutuka.

Yagambye nti bakyekenneenya ebigenda mu maaso oluvannyuma lw'okulonda okuggwa.