Mmotoka ya Bobi ecamudde ab'omu Ghetto

Abantu ku mmotoka ya Bobi.

MMOTOKA ya Bobi Wine olwatuuzizza e Kamwokya ku kitebe ky'ekibiina kya National Unity Plartform, abawagizi be ne batandika okuluumulukuka.

Kigambibwa nti emmotoka eno teyitamu masasi okusinziira ku Bobi Wine era abawagizi be ku kitebe kya NUP eggulo baagyekubisirizzaako ebifaananyi nga bwe bagiwaana kyokka nga waliwo abamu abalinamu akakunkuna ku by'obutayitamu masasi.

Yabadde ekuumwa bakanyama nga buli muntu ayagala abeeko ky'agikolako omuli abaabadde bajooza ate ng'abamu bagisiimuula ekale nga n'okujooza tekunaggwa, abakaayana nti teyozebwa na ssabbuuni abalala nti eyozebwa mazzi ga ttaapu, abalala nti ag'okunywa agatundibwa mu ccupa.

Waliwo abaagiyingiddemu kyokka nga tebakkirizibwa kwekubisizaamu bifaananyi era okukakasa nti ng'umu, bangi omuli ne basereebu nga Mathias Walukagga, baabadde bakoona ku bbaati ne bagitenda.

Bino okubaawo nga Bobi annyonnyola bannamawulire ku by'okuva mu musango gw'ebyokulonda gwe yawaaba ng'agamba nti gwalimu okubbira.