Bazudde omulambo ogutaliiko magulu mu kibira

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya mu Nfuufu Zzooni.

Baaguzudde ku makya g'Olwokutaano era omutuuze Badru Mulindwa eyabadde azze okunoga eddagala mu kibira ye yalabye ng'embwa zirina kye zzaabadde zirya kwe kugendayo n'alaba omuntu n'akuba enduulu.

Omulambo gw'omusajja ono gwasangiddwaako akatambala nga kuliko amannya ga Muhangi ng'alabika yabadde atemera mu myaka 40.

Yabadde ayambadde empale enzirugavu n'essaati nga nayo nzirugavu nga wabbali waliwo omuggo nga n'omutwe gwabadde gutandise okuvunda nga n'amagulu tekuli.

Abatuuze baategeezezza nti eyattiddwa babadde bamulaba ku kyalo naye nga tebamumanyi mu kitundu.

Akulira poliisi y'e Lubowa, Benjamin Atuhurira yategeezezza nti baatutte omulambo mu ddwaaliro e Mulago okusobola okugwekebejja.