Balaze ebiyinza okuvaako abayizi okukola obubi ebigezo mu byalo

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka okukola ebigezo by'akamalirizo ebya P7, S4 ne S6, ab'omu byalo bandibikola obubi olw'embeera y'omuggalo gye babaddemu.

Tukamuhirwe eyalambudde agamu ku masomero yategeezezza nti abayizi bangi babadde tebagenda ku masomero nga n'abazadde abamu tebasobola kubawa bikozesebwa. Abamu babadde batindigga eng'endo empanvu ekyongedde okugootaanya ensoma y'abaana.

Akulira Welden High School, Banabasi Aden yategeezezza nti amasomero g'obwannannyini galina amabanja mangi n'asaba Gavumenti okugayambako nga bwe yeeyama.