Omusuubuzi eyakubwa essasi mu kabina alongooseddwa

Achen nga yaakamala okulongoosebwa essasi mu kabina mu ddwaaliro e Mulago.

OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira  mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu.

Harriet Achen 37 omusuubuzi wa mukene mu katale k'e Bugembe ekisangibwa e Jinja  yakubibwa  ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde essasi   abapoliisi bwe baali baliko omubbi gwe bagoba.

Ono essasi lyamusanga munda mu bbaasi bwe yali anyuse  ng'adda waka era  oluvannyuma lw'abaserikale okukuba amasasi,  erimu lyawaba ne limusanga ku mutto kwe yali atudde emabega ne limukuba  ne liwagamira  mu kabina.

Yasooseddwa  mu ddwaaliro ly'e Jinja ne bamukolako n'oluvannyuma ne bamwongerayo e Mulago okusobola okumuggyamu essasi eryabadde likyalemedde mu mubiri gwe.

Sumin Obunyi muto wa Achen yategeezezza nti  embeera gye baddusirizaamu mu ddwaaliro yabadde mbi n'ategeeza nti abasawo  b'e Jinja oluvannyuma lw'okwekenenya embeera  ye nga  mbi basazeewo okumwongeyo e Mulago okufuna obujjanjabi obumala.