
ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu maaso mu Lutikko e Lubaga.
Dr. Lwanga waakuziikibwa enkya mu Lutikko munda era abaanaatuula wabweru obutebe butegekeddwa bulungi okusobozesa abakungubazi okutuula obulungi nga bagoberera ebigenda mu maaso.
Omubiri gwa Dr. Lwanga gumaze okusiibwa mu chapel gye gugenda okusula enkya, aleetebwe mu Klezia gy'anaaziikibwa.