Kalidinaali Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Lwanga

Kalidinaali Wamala

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike ey'okuba nga yamusoose okuva mu nsi.

‘'Bakungubazi  bannange tewali kintu kiruma nga kufiirwa omusikaawo kyokka nnina okukkiriza nti okufa kwa Ssaabasumba Lwanga okw'ekibwatukira kabonero akakasa Kristu Omuzuukivu. Mu kino buli omu ku ffe alina okubeera omwetegefu ekiseera kyonna kubanga omwana wa Katonda alijja ekiseera kyonna Luka 12:40.

Mu lugendo lwange n'omusika wange Ssaabasumba Lwanga nnina ebintu bisatu byeneebaliza Katonda era bye  siyinza kwerabira ;

Nga  April 10,1978, nnali wa mukisa okubeera ku lusegere lwe era namubikkulira ekitabo ng'asoma Mmisa ye embereberye e Kyabakadde nga yaakafuna obwafaaaza.

Mu 1997, Paapa Bendictor IV,bwe yamulonda okubeera Omusumba omuberyeberye w'Essaza lya Kasana Luweero nze namutuuza nga March 1 ate  2006 bwe yalondebwa okubeera Ssaabasumba owookusatu ow'Essaza Ekkulu erya Kampala era nze namutuuza ku bukulu bwebumu nga September 30  mu Lutikko e Lubaga.

Noolwekyo mu kiseera kino okubanga musiibula osobola okuteebereza ennyiike gye nnina ku mutima naddala mu mbeera eno ng'okufa kuzze  mu kiseera kye tubadde tutasuubira. Nsaba Yezu Kristu Omuzuukivu ayanirize omwoyo gwe mu bulamu obutaggwawo," bwe yamalirizza.