Ababaka ba palamenti aba NRM abapya 200 batuuse e Kyankwanzi mu lusirika

Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.

Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika e Kyankwanzi gye bagenda okumala wiiki ssatu nga bafuna okubangulwa okw'enjawulo ku nzirukanya y'emirimu mu palamenti.

Ababaka Abalonde Nga Balinze Okulinnya Bbaasi Boolekere E Kyankwanzi.

Ababaka Abalonde Nga Bassa Ebintu Byabwe Mu Bbaasi.

Bano Nga Beettise Amazzi.

Bano basimbudde okuva ku kisaawe e Kololo era nga balaze essanyu wamu n'okwesunga ebyo ebigenda okubasomesebwa nga bagamba nti byakubayamba kinene mu nkola y'emirimu gyabwe mu kuweereza eggwanga .

Omumyuka wa Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM, Richard Todwong agambye nti bonna bamaze kubakebeza kirwadde kya Covid 19 era nga kyenkana bonna ebivudde mu musaayi biraze nti balamu bulungi.