Obufumbo obulimu okutetenkanya buleeta essanyu

MU nsi mulimu abasajja abajega. Bano obujega buno babutuusa ne mu laavu nga tasobola kusoma bubonero bwa muntu amwagala.MU nsi mulimu abasajja abajega. Bano obujega buno babutuusa ne mu laavu nga tasobola kusoma bubonero bwa muntu amwagala.

Obadde okimanyi nti ne bwe yeebikka n’omukazi mu buliri asigala kyekubagiza n’okwebuuza oba omukazi akkirizza okunyumya naye akaboozi?

Ab’ekika kino, era bamenya nnyo abaagalwa baabwe emitima. Omukazi ne bwamutonera ebyenkana wa, ye asigala talaba nti omukazi ono asaba mukwano.

Batabani, kye mulina okumanya nti abakazi tebalinga basajja nti bw’aba alina ky’ayagala akikugamba.

Akozesa bubonero na maaso n’osalawo kiki ekiddako. Abeera ayagala nnyo okukusisinkana, okutambulako naawe n’okukyalira w’osula era bw’atuuka ku buliri bwo yeebaka mu ngeri esaba omukwano.

Kati bw’olemwa okubaako kye weekolera bw’akuyita ffala ng’oyomba?

Ate kye mulina okumanya nti si buli kintu nti okifunira ku mukeeka. Ebimu olina okuteekamu obudde, ssente, amaanyi okulaba ng’atuuka ku kyoyagala.

Kati mbasaba mukomye obujega mu bintu bya laavu, bannaammwe mubawe kye baagala munyumirwe obulamu…
 

Obufumbo obulimu okutetenkanya buleeta essanyu