Ssaalongo bamusalidde ogw'okujamawaza ekibuga n'azirika

OMULAMUZI wa kkooti ya City Hall Moses Nabende mu Kampala olutyemulidde Ssaalongo Twaha Jjuuko 65, ekibonerezo kye oluvannyuma lw'okusingibwa omusango gw'okujamawaza ekibuga n'azirikira mu kaguli.

 Ssaalongo Jjuuko ng'abaserikale b'amakomera bamukwatiridde obutagwa.

OMULAMUZI wa kkooti ya City Hall Moses Nabende mu Kampala olutyemulidde Ssaalongo Twaha Jjuuko 65, ekibonerezo kye oluvannyuma lw'okusingibwa omusango gw'okujamawaza ekibuga n'azirikira mu kaguli.

Jjuuko musawo wa kinnansi nga mutuuze mu Kisingiri Zooni e Mengo. Abadde n'emisango esatu egy'okujamawaza ekibuga okubadde; okuta kazambi, okuba n'obuyumba obukutte mu mbinabina n'okuzimba nga talina lukusa.

Ekitongole kya KCCA kyawa Jjuuko ebbaluwa nga bamulagira okulongoosa embeera eno n'agiziimuula n'agenda mu maaso n'okukola nga bw'alaba.

Emisango gyonna gimusinze omulamuzi n'amutegeeza nti ebibonerezo by'abadde alina okukola bibadde bikakali kyokka olw'embeera y'obulamu bwe agenda kumuwa bisaamusaamu.

Amugambye abadde waakusasula obukadde 18 oba okusibwa emyaka munaana, bwatyo n'amulagira okusasula 1,000,000/- oba okusibwa emyezi munaana.

Omulamuzi abadde yaakakiggya mu kamwa Jjuuko n'agwa eri baamuyoddewo buyoozi.