Bobi Wine akolokose Mmengo ng'akuba abadigize emiziki e Busaabala

BOBI Wine alumbye ab’e Mmengo abaasenda ekitundu kya bbiici ye bw’akyusizza ezimu ku nnyimba ze ezibadde zikolokota Gavumenti ng’awali ekigambo Gavumenti ateekawo abaasenze ettaka ly’ayita erirye.

 Bobi Wine ng’akuba emiziki e Busaabala.

Mu kivvulu kye ekyabadde e Busaabala ku Easter Monday, yalinnye ku siteegi ku 5.30 ez’ekiro n’oluyimba lwa, Tugambire ku Jennifer lwe yayimba ng’alaga obukambwe bwa dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi.

‘Lwali Lwakutaano bwe buti ng’obukuba bwatonnye ku bbiici gye nkubira emiziki, obusajja bwasalako ne zikatapira nga bukambwe okukira ennumba….’

Bino bye bimu ku bigambo Bobi bye yakyusizza mu luyimba lwe wabula ng’ayimba nga bw’atuuka ku kigambo Jennifer ate n’asirika olwo abawagizi ne baddamu nti tugambire ku Mmengo.

Yatandise oluyimba lwa Byekwaso kyokka nga bw’alaalika abawagizi be obuteesiga Mmengo n’abakungu baayo olw’ebyabaddewo.

Yagambye nti, be bamu abalikuguza era be bakusendawo kale osaana obegendereze olwo abawagizi be ne bakuba enduulu.

Kuno yazizzaako oluyimba lwa Time Bomb kyokka n’agamba nti ettaka baliggye ku ffe bannansi nga batusenda ate ne baliwa Abachina nga kino yakizzeemu emirundi etaano.

Bobi Wine yayimirizza okuyimba n’ayogera nti teyaweebwa mukisa nga batuuse okumusendawo ate nga n’ekituufu teyalina musango gwonna kuba bonna baweereza Ssaabasajja Kabaka wabula waliwo abamu abakozesa obubi ofiisi ne batulugunya abantu ne kyonoona erinnya lya Kabaka.

Bwe wabadde otunula olukwakwayo, ng’olowooza nti abantu baabadde bangi kyokka tebaabadde bangi nga bwe kitera okubeera olw’abawagizi abamu okulowooza nti bbiici eno eya One love, yonna baagisenda.

Waliwo n’abaabadde batuuka ne beewuunya okulaba nga tebaagimalaawo.