Sharita Mazzimawanvu ayanjudde omusajja omulala

Sharita Mazzimawanvu akiggadde! Wayise akabanga ng’amaze okwezza ku mudaala era babadde bamulambula nga naye bwe yeetegereza era kati alabika atuuse okuguvaako.Akyazizza omusajja we omupya n’akontola nti “aboogera muddeemu mwogere.”

Omukolo gwabadde wa ssenga we ku kyalo Nalubabwe mu ggombolola ye Nabbaale mu Mukono, kyokka wabadde oyinza okuguyita ogw’okwanjula olw’ebintu omusajja bye yatutte n’engoye ez’enjawulo Sharita ze yakyusizza.

Oluvannyuma lw’okukyala Sharita ne bba baalinnye ennyonyi ne boolekera e Dubai gy’abadde okumala akabanga mu kuwummulamu, yakomyewo mu ggwanga gye buvuddeko.

Omukolo gwabaddewo omwezi gumu n’ekitundu emabega kyokka olw’okutya okutaataaganyizibwa n’okwewala ebigambo by’abantu, Sharita yasalawo okugukuuma nga gwa kyama era n’akuutira abantu ababale abaaguliko obutabaako kye boogera yadde okulaga ekifaananyi kyonna, okutuusa ye kennyini lwe yafulumizza ebifaananyi bye yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook ku Lwokuna ekyalowoozesa abantu nti gwabaddewo ku wiikendi.

Mu bifaananyi bye yataddeyo talaga mwami we era ebyo mwe balabikira bombi obwedda amusalako, abantu ne basigala nga beebuuza oba aliko obuzibu! Sharitah awereeza pulogulaamu y’emikolo n’embaga ku Delta TV era omukozi ku Super FM ali mu nteekateeka za kutongoza bufumbo bwe obupya oluvannyuma lw’okwawukana n’eyali bba Kiwanuka Mutaawe.

Mu 2016 yaddukira mu kkooti e Nakawa n’agisaba okugattululwa (Divorce) ne Mutaawe omusuubuzi w’omu Kampala ekyakolebwa. Ensonga tezaawanvuwa nnyo kubanga buli omu alabika yali yakeetebwa dda munne.

Bukedde yamutuukiridde ku ssimu era bwe yabuuziddwa amannya n’ebikwata ku musajja gwe yakyazizza, Sharita yagaanye okumwogerako ng’agamba nti akyayagala kumukuuma nga wa kyama.

“Nafulumizza ebifaananyi ebyo okusirisa abo ababadde banjogerera n’okusimbako abasajja abalala, ebikwata mu musajja wange omupya mubeere bagumiikiriza mujja kubimanya mu kiseera ekituufu naye kye njagala mumanye kati nina wennyimiridde.

Ebyaliwo byaliwo sisuubira kuddamu. Nnali muto naye kati nkuze era ntegeera bulungi era okufuna ono kwabadde kusalawo kwange nga ndaba y’oyo ansaanira ate nga ffembi twetegeera era twagalana” Bwe yasabiddwa okubaako ebitonotono ebikwata ku musajja by’ayogera, Sharita yagambye nti “ Naye abantu muli bazibu, ne musibako n’abasajja abakadde.

Nga bw’owulira nti nze Mazzi Mawanvu, ono gwe nafunye akyali mbooko, amalako era namusuubiza okumuzaalira n’abaana ekirungi nkyali muwala muto.” Omu ku mikwano gya Sharita ataayagadde kumwatuukiriza yategezezza nti omulenzi gwe yakyazizza nkuba kyeyo mu Amerika kyokka ne wano mu Uganda atera okubeerawo.

Sharita okukakasa nti kati ali mu laavu, yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook omuli obugamba nti; “Katonda bwakuwa omukyala omulungi tomutwala nga kyakuzannyisa kubanga abasajja abalala bangi ebbali basabirira kumutwala.

Mwagale, mulabirire era omuyise bulungi….” ebigambo bino n’ebirala abantu abamu obwedda bagamba kirabika yabadde abiwereeza eyali bba Mutaawe. So ng’ate n’abamanyi Mutaawe bagamba nti naye gyali agamba nti yafuna obuweerero era kati aliko ku kanyama! Sharitah era yategeezezza Bukedde nti ategeka kwanjula na mbaga mu bwangu kubanga tebaagala kukukuta.

Mu October wa 2016, Sharitah yategeeza Bukedde nga bwe yagenze mu kkooti e Nakawa n’awawaabira Mutaawe olw’obutatuukiriza bisuubizo bye yakola naye nga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu nga August 27, 2011.

KKOOTI YASOOSE KUBAAWUKANYA NE MUTAAWE

Sharitah yategeezezza Bukedde nti kkooti yakkiriza okubaawula era omusajja gwe yafunye yatandise dda okumumalako ennaku.

Sharita ayagala nnyo Dubai era olwavudde ewa ssenga yasabye omusajja bawummulireko eyo so ng’ate n’olwamala embaga ne Mutaawe hanemuuni yali Dubai.

Sharitah agamba nti ensonga eyasinga okumwawula ne Mutaawe bwe butabeera mwesimbu ate nga ne bw’amusaba okwetonda nti ng’omusajja agaana n’asigala ku kimu kya kwegaana.

Yagambye nti ennyumba kkooti gye yakkiriza akulizeemu abaanabe e Kyanja, tagenda kugirekera Mutaawe wadde ng’omusajja gwe yafunye yamuwadde buli kimu ky’ayagala kubanga era abaana be ababiri yabazaala mu Mutaawe era ye Mutaawe ng’omusajja alina obuvunaanyizibwa okubalabirira.

Agamba nti n’essente 55,000/- kkooti ze yasala Mutaawe azimuwenga buli wiiki nazo tezimala naye ekyo yakivaako kubanga ye mukazi mukozi nnyo agattako ezize.

Yagasseeko nti ekyamuluma be bantu abamu abaasoma obubi ekiwandiiko ssente ezo ne bazisavuwaza ne baziyita 550,000/- ekitaali kituufu.

BAASISINKANA MMENGO

Ensonda zaategeezezza Bukedde nti omusajja ono Sharitah nga kati yeeyita Sharitah Mazzi Mawanvu, yamusanga mu Bulange e Mmengo awaali omukolo omukozi wa tivvi ya Delta ono gwe yali akwata ku kkamera olwa pulogulaamu y’abagole gy’akola, olwo Nnaalinya n’amutegeeza nga bw’alina omusajja omuntumulamu.

Sharitah agenda okuwuliriza nga waliwo omulamwa ne bakkaanya n’omusajja nga naye yaliwo ku mukolo ogwo era kye yasookerako kumuwa nnyumba n’amusuubiza n’okumutwala mu Amerika.

Sharitah yategeezezza nti bino bya nsi ye taliiwo kulaba nnaku era essaawa eno mu Uganda ayinza okuba nga ye muntu asinga obusanyufu.

Amannya g’omusajja n’ekifaananyi yagambye nti tayagala bantu kubimanya kati kubanga alina bangi abamuwalana n’abeesoma edda okwonoona obulamu bwe n’obufumbo bwe obunaddako abamulwanyisa.