Nateeba olulenzi olumpa essanyu!

Okumanya mwanamuwala ono si mmere, abawala bonna abapya abajja okukola mu bbaala eno omubeera kaliyoki abalabulirawo obuteemanyiiza Kevin!

 Sumayaiah

SUMAYIAH Nansamba azannya mu firimu ‘Omwana w’endagu’ eragibwa ku Bukedde TV buli Mmande ku ssaawa 2:00 ez’ekiro, nzaalwa y’e Masaka. Muwala wa Abdul Ssaka e Masaka ne Sarah Nakyanzi ow’e Gomba.

Alina emyaka 22 era abeera Katooke mu ggombolola y’e Nabweru mu disitulikiti y’e Wakiso.

Yasomera King Fahad P/S Busega, Budinse Memorial SS e Butambala ne Bulo Parents SS e Butambala.

Olwamaliriza S6, yeegatta ku ttendekero lya YMCA n’akuguka mu byamawulire. “Okuva obuto, nneetabanga mu mizannyo egyazannyibwanga ku ssomero era abasomesa banjagalanga nnyo.

Nali mukalukalu ng’ebitundu bye bampa nzannya ne mbiggyayo bulungi.

Katemba yannyumiranga, ne nsalawo okumutwala mu maaso,” Nansamba bw’agamba. Amaze emyaka ena ng’azannya katemba owa ssente.

Yatandikira mu kibiina kya Winners Production we yazannya omuzannyo, ‘Obugagga bw’eggwanga ekkolimire.’ Eno yavaayo ne yeegatta ku ‘Alina Talents’ gy’agamba nti baasinganga kuzannya mizannyo gya mu butabo.

Oluvannyuma ng’ekibiina kya ‘Alina Talents’ kyeyawuddemu, yagenda mu ‘Balina Talents International’ gy’azannyira ‘Omwana w’endagu.’

Mu firimu ‘Omwana w’endagu’, azannya ng’omu ku bawala ba kaliyoki. Y’asinga okuwagira omukwano gwa Kevin ne Shivan mukwano gwe era taganya muwala mulala kuliraana Kevin.

Okumanya mwanamuwala ono si mmere, abawala bonna abapya abajja okukola mu bbaala eno omubeera kaliyoki abalabulirawo obuteemanyiiza Kevin!

Naye ekyebuuzibwa Kevin anaanywerera ku Shivan nga mikwano gye bwe gikyagala? Okumanya ebisingawo, amaaso togaggya ku Bukedde TV buli Mmande.

“Omuntu eyansikiriza okuyingira katemba ye Flavia Namulindwa kubanga namulabanga ng’azannya bulungi.

Ne Mary Bata wadde ye muyimbi, naye by’akola birimu katemba era binnyumira.

Mu biseera byange eby’eddembe, ngenda ku bbiici, okuwuliriza ennyimba, okugenda mu mazina n’okwogera n’omwami wange. Nze nnina ampaana ate saagala kawawa kubanga omwana wa bandi ampa essanyu.