Okukola ne baze kituyambye okwewala ebikemo

OLUGERO lw’Abaganda olugamba nti Ssessolye bw’atafa atuuka ku lyengedde luntuukirako bulungi.

OLUGERO lw’Abaganda olugamba nti Ssessolye bw’atafa atuuka ku lyengedde luntuukirako bulungi. Nze Hamidah Nakiganda, mbeera Kabowa. Nnali sirootangako kubeera mu mukwano gwe ndimu mu kiseera kino okutuusa lwe nagwa ku mwana mulenzi Jafari. 

Mwebaza nti akyusizza obulamu bwange era emyaka ena gye twakamala naye mu bufumbo, tutuuse ku birungi bingi omuli n’ezzadde. 

Tulina edduuka lya sipeeya e Katwe era ffembi mwe tukolera. Era tunnyuka ffenna ng’ekiseera kituuse. Kino kye kimu ku bituyambye okukulaakulana lwa nsonga nti enfulumya ya ssente zonna tumala kugikkaanyaako.

Era n’ebikemo bye twandifunye mu kutaayaaya wano we tubiwonera. Twatandikira mu muzigo wabula ne twezimba mpola era we njogerera nga tulina n’ennyumba eyaffe ate nga tukyagenda mu maaso. 

Yeeyanjula ewaffe mu butongole era mwebaza nti bye yeeyama omuli obutanjuza n’okumpa omukwano ogujjudde abituukirizza. Mmusuubiza okumuwulira, okumwagala n’okumuzaalira abaana ekika kye kyongere okugaziwa.

Okukola ne baze kituyambye okwewala ebikemo