Ebizibu omuwala by'afuna olw'okwegema okuzaala

ABAKYALA bangi abeeyambisa enkola y’ekizaalaggumba kyokka ne beesanga nga bazikoleddemu ensobi.

 

 

 

ABAKYALA bangi abeeyambisa enkola y’ekizaalaggumba kyokka ne beesanga nga bazikoleddemu ensobi.

Kino oluusi kiva mu butamanya kika ki ekigendera ku mibiri gyabwe n’emyaka mwe balina okuzikozesa.

Dr. Apollo Ahimbisibwe akolera mu ddwaaliro lya Church Road Clinic e Kamwokya agamba nti enkola ya kizaalaggumba erina kukozesebwa abakyala abali wakati w’emyaka 18 ne 45.

Agamba nti ng’omukyala tannatandika nkola eno, kirungi amanye abaana b’ayagala okuzaala era mu bbanga ki.

Ahimbisibwe agamba nti waliwo ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa omuli kkondomu, empiso, Implants, okusala obuseke, amakerenda, akaweta n’ebirala.

“ Ebika bino byonna byawulwamu ebika bibiri nga muno mulimu ezikolera ku mpulirizo z’omubiri (homonies) ate n’ezo ezitakolera ku mpulirizo z’omubiri (barries)”, bw’annyonnyola.

Agamba nti enkola z’okusala obuseke mu bakazi ne mu basajja tesaana kukozesebwa ku muntu ng’akyayagala okuzaala, kuba obuseke bwe busalibwa, tebusobola kuyungibwa.

Agamba nti enkola ya kondomu y’esinga ku muntu atazaalangako kuba obulabe erina butono ddala eri abagikozesezza, okuggyako ng’eyabise.

Okukozesa amakerenda kikola ku mukazi ng’azaddeko, so ssi atazaalangako. Singa omuwala atazaalangako akozesa amakerenda gano ayinza okwesanga ng’alemeddwa okuzaala olw’amakerenda okusiriiza amagi agazaala.

Ekirala ekika kyonna ekikozesebwa okumala emyaka esatu nakyo si kirungi ku mukyala akyazaala, kuba ayinza okufuna obuzibu okufuna olubuto, kuba eddagala liba lirudde nnyo mu mubiri.

Enkozesa ya kkoyiro nnungi ku mukyala amalirizza okuzaala kubanga omukyala agigendako asiriizibwa amagi agazaala omwana nga ne bwe yeegatta tasobola kufuna lubuto.

Eno nayo si nnungi ku muwala atazaalangako, kuba ne bw’akomya okugikozesa ayinza okukaluubirizibwa okufuna olubuto.

Ahimbisibwe agattako nti nga tonnatandika nkola ya kizaalaggumba, kirungi osooke olaba omusawo omukugu akukebere era akuwe eyo egendera ku mubiri gwo.

 

Ebizibu omuwala by’afuna olw’okwegema okuzaala